
John Blaq n'ekyana nga bazina
OMUYIMBI John Kasadha eyeeyita John Blaq omuziki gwakuba ennaku zino teguleka byana mu ntebe. Era abamugoberera ennaku zino bagamba nti ssinga abadde asoma, yayingidde dda yunivasite ng'ate buli lwakola ebibuuzo ayitira waggulu.
John Blaq alina ennyimba nga: ‘Tukwatagane, Do Dat, Ebintu byo, Makanika, Maama Bulamu, Tewelumya, Sweet Love kwe yagasse Aya Bass akuguse mu bintu by'omuziki anti buli gy'agenda avaayo bakkirizza nti omwana yajja.
Wadde John Blaq ayimba atontoma ebigambo, ennyimba ze zino zirimu amakulu nga n'ezisinga za mukwano era zifuukuula ebyana ne bimulumba ku siteegi ne batiguka. Alina ekivvulu kye yabaddemu akaana ne kamusoomooza kyokka yagenze okuva ku siteegi ng'ayoya busera. Kwe kugamba akaana kaamuwuubye n'akkiriza.
Musa Kavuma owa KT Events yawuliddwa ng'agamba nti omwana yakubye oluyimba lwa ‘‘Aya Bass'' oba luyite ‘‘Ebyalagirwa'' ne lumuwoomera n'ekyaddiridde kunoonya maneja we Norman ne bakutula ddiiru.
Kavuma ne John Blaq bategese ekivvulu kye Batuumye ‘‘ The Aya Bass Concert'' ekigenda okubeera ku Freedom City e Namasuba nga November 29, 2019. Nga November 30, Trans Africa Jinja ate nga December 1, abeere ku Agip Motel e Mbarara. Ekivvulu kino kiwagiddwa Vision Group efulumya ne Bukedde.