TOP

Ab'omu Ghetto omugaati gwa Museveni gubatabudde

Added 4th November 2019

ABARASITA b’omu Ghetto batabuse. Beetemyemu ku bukulembeze bwa Butcherman, Pulezidenti Museveni gwe yalangiridde gye buvuddeko nga ye Pulezidenti w’omu Ghetto n’amuwa n’omulimu.

 Kabaya ne Ghetto King

Kabaya ne Ghetto King

ABARASITA b'omu Ghetto batabuse. Beetemyemu ku bukulembeze bwa Butcherman, Pulezidenti Museveni gwe yalangiridde gye buvuddeko nga ye Pulezidenti w'omu Ghetto n'amuwa n'omulimu.

Abarasita baagambye nti bo bamanyi Kabaya nga pulezidenti w'omu Ghetto kyokka ne bawa Butcherman  amagezi okulya omusimbi gwe baba bagumuwadde. Bino baabyogeredde mu lukung'aana lwe baakubye mu Ghetto y'omu Kisenyi ku Ssande.

Baabadde bakulembeddwamu omuyimbi Nick Rasta eyeeyita Ghetto King. Ono abadde y'akadda okuva e South Africa gye yawangulidde engule y'okukuba omuziki era bwe baamutegeezezza ku mawulire g'okuwamba mukama we Kabaya n'atabuka.

‘Pulezidenti wa Ghetto amanyiddwa ye Kabaya kale kibeera kikyamu abantu nga Kusasira ne Full Figure abatamanyi bya Ghetto okuwabya omukulembeze w'eggwanga ne bamulaga Butcherman atali mutuufu. Kikyamu nnyo okweyita kyotali. Kabaya yagambye nti Butcherman abeere eyo mu ofiisi ze naye tageza n'alinnya mu Ghetto kubanga bajja kumuliirayo. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...