TOP

Okwanjula kwa Julie Angume kwengedde

Added 5th November 2019

Omuyimbi Julie Angume emikolo gy’okwanjula omusajja gwe yafunye gimuwuuba. Alonze abasuubuzi n’ebikonge mu Kampala okukulira enteekateeka z’emikolo.

 Julie Angume ne bba

Julie Angume ne bba

Omuyimbi Julie Angume emikolo gy'okwanjula omusajja gwe yafunye gimuwuuba. Alonze abasuubuzi n'ebikonge mu Kampala okukulira enteekateeka z'emikolo.

Angume yafiirwako bba omuyimbi Martin Angume emyaka nga mukaaga egiyise ng'era abasajja bazze bamutokota kyokka nga tabawa budde. Gye buvuddeko yavuddeyo n'ategeeza nga bwe yafunye omusajja Samuel Ssekajugo Musoke gw'asazeewo okufumbirwa.

Leero Julie lw'ateeseteese okukola ‘lonki' z'enkiiko eziteekateeka emikolo gye. Agitadde ku Ok Hotel ku luguudo lwa Sir Apolo Kaggwa. Mu bantu abasuubirwa okukulembera enteekateeka z'emikolo  kuliko: Haji Isa Musoke, Sofie Gombya, Emirian Kayima, abayimbi n'abasuubuzi ab'amaanyi mu Kampala.

Emikolo gigenda kubeerawo nga December 12, 2019.  Gigenda kubeera mu maka g'omugenzi Ronald Ssemugga e Kiboga mu Kyankwanzi. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Matia Lubega eyabula ku bakadde be

Eyabula kati emyezi ebiri y...

Omwana eyabula kati emyezi ebiri nga n'okutuusa kati tannamanyikako mayitire yeeraliikirizza bazadde be nga bagamba...

Omuwala atuuyanidde mu ofii...

OMUWALA agambibwa okubba ensimbi emitwalo 290,000/= ku muvubuka yakiguddeko omuvubuka bwe yamuguddeko mu Kampala...

Ensi kuyiiya: Wuuno nnamuka...

ABAVUBUKA bangi banyooma emirimu olwo ne badda mu kwekubagiza nga bwebatalina mirimu n’obwavu obubalemesa okubaako...

Ensi ekalubye omukazi ow'em...

Nansubuga agamba ku myaka 75 asoboola okwetuusaako buli kimu.

Dr. Diana Atwine n'abakulu abalala nga balambula eddwaaliro

Dr. Atwine alagidde eddwali...

MINISITULE y'ebyobulamu ekkirizza eddwaliro ly'e Kayunga erimaze emyaka ebiri nga liddaabirizibwa litandike okujjanjaba...