TOP

Abtex ne Bajjo gabeesibye

Added 8th November 2019

ABATEGESI b’ebivvulu Abbey Musinguzi (Abtex) ne Andrew Mukasa owa Bajjo Events eggandaalo lya Ssekukkulu batuuse okuliyitamu nga beemagaza. Baali babaze nti Ssekukkulu ya 2019 wenneetuukira ng’omulamuzi amaze okusalawo eggoye ku musango gwe baawawaabira omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Martin Okoth Ochola ne Ssaabawolereza wa Gavumenti ku by’okuyimiriza ebivvulu byabwe ebya ‘Kyalenga Concert’.

 Abtex ne Bajjo ku kkooti

Abtex ne Bajjo ku kkooti

ABATEGESI b'ebivvulu Abbey Musinguzi (Abtex) ne Andrew Mukasa owa Bajjo Events eggandaalo lya Ssekukkulu batuuse okuliyitamu nga beemagaza.

Baali babaze nti Ssekukkulu ya 2019 wenneetuukira ng'omulamuzi amaze okusalawo eggoye ku musango gwe baawawaabira omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Martin Okoth Ochola ne Ssaabawolereza wa Gavumenti ku by'okuyimiriza ebivvulu byabwe ebya ‘Kyalenga Concert'. Byali bitegekedde mu biseera bya Pasiika 2019.

Ku Lwokuna omusango guno gwatandise okuwulirwa mu maaso g'omulamuzi Lydia Mugambe Ssaali  owa  kkooti  ewozesa   emisango  gy'engassi  ku Twed Tower. Bano baali bategese ebivvulu ebyalimu omuyimbi Bobi Wine (omubaka wa Kyadondo East) poliisi n'ebiyimiriza ng'egamba nti terina bukuumi bumala mu bivvulu bino ekyabafiiriza omusimbi.

Baddukira mu kkooti nga balowooza nti omulamuzi agenda kugusala mangu baddemu okutegeka ebivvulu byabwe. Kyokka omulamuzi yabasabye baweeyo okwewoozaako kwabwe mu buwandiike nga December 13, 2019 oluvannyuma alyoke awe ensala ye. Bajjo ne Abtex bayambibwako  Erias Lukwago ne Shamim Malende. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...