TOP

Stecia awadde Julie obukwakkulizo ku ssente z'okwanjula

Added 16th November 2019

ABAYIMBI n’abasuubuzi bongedde ebbugumu mu nteekateeka y’emikolo gy’okwanjula kwa Julie Ssemugga egisuubirwa okubeerawo nga December 12, 2019 e Kiboga mu Kyankwanzi.

 Julie Ssemugga ng’ali ne Stecia Mayanja (ku kkono). Julie Ssemugga ng’ali ne mikwano gye. Ku ddyo ye metulooni we Janat Kirungi.

Julie Ssemugga ng’ali ne Stecia Mayanja (ku kkono). Julie Ssemugga ng’ali ne mikwano gye. Ku ddyo ye metulooni we Janat Kirungi.

Mu lukiiko oluteekateeka emikolo gino olwatudde ku Hotel Ok ku luguudo lwa sir Apollo Kaggwa mu Kampala olwomulundi ogwokubiri, omuyimbi Stecia Mayanja yeeyamye okuwaayo obukadde bubiri kyokka n'asuubiza okuzongerako ssinga ebivvulu bya December binaamutambulira bulungi.

‘Siri bulungi ennaku zino naye Julie mukwano gwange nnyo tulina bingi bye tuyiseemu nja kusooka muweeyo obukadde bubiri naye mu maaso awo nja kwongerako,' Hajati Stecia Mayanja bwe yategeezezza.

Ate omuyimbi Amelia Nambala yategeezezza olukiiko olwakubiriziddwa omwogezi w'oku mikolo Haji Isa Musoke nti ye buli lutuula wakuleetanga emitwalo 50 era yakutte mu nsawo n'azisasula nga n'olukiiko olwasooka yakola ekintu kye kimu.

Wabula Stecia yeebazizza Julie okusalawo n'afuna omuntu gw'asazeewo okulaga abantu n'agamba nti aggyewo ebigambo bingi ebibadde biyitingana wano ne wali.

Julie yafi irwa bba Martin Angume emyaka mukaaga egiyise era ng'ekiseera kino abadde talina gwawaana.

Ennaku zino bwomuyita Julie ng'ayongerako nti ‘mukyala Ssekajugo omu bwati' anti kati yeesunga kwanjula Musoke Ssekajugo eyamutwala omutima.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...