TOP

Nakakande yeeriisa nkuuli mu Miss World

Added 11th December 2019

NNALULUNGI wa Uganda, Oliver Nakakande (owookubiri ku ddyo) ayongedde okutangaaza emikisa gye okuvuganya mu mpaka za nnalulungi w’ensi yonna ez’akamalirizo sinnakindi okusitukira mu ngule y’omwaka guno.

Ayolesezza omutindo ogwa waggulu mu lukontana olwa ‘Head to Head Challenge' ogumu ku mitendera egitunuulirwa ennyo nga balonda omuwanguzi w'empaka zino.

Abawala 130 okuva mu nsi ez'enjawulo be bavuganya mu mpaka z'omwaka guno.

Ku Mmande baayawuddwamu ebibinja 20 mwe baavuganyiza mu lukontana luno era Nakakande ye yakulembedde banne mu kibinja ekya 18 ne yeesogga olukontana oluddako. Kati alindiridde kuttunka ne nnalulungi wa Mexico.

Ssinga amuwangula yeesogga empaka ez'akamalirizo ezigenda okubeerawo ku Lwomukaaga nga December 14, mu kibuga London.

Mu lukontana luno buli muntu yaweereddwa omukisa okunnyonnyola ky'agenda okukola ssinga awangula engule ya ‘‘Miss World''.

Oyogera pulojekiti yo, kyekola, engeri gy'eyambamu abantu ne w'otuuse mu kubayamba. Nakakande yabanjulidde pulojekiti y'okusomesa abawala abafuna embuto nga tebanneetuuka.

Omuwanguzi era yawangula engule y'obulungi obw'ensonga n'afuna pawundi emitwalo 20 eza Uganda 972,453,831.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuyimbi Pia Pounds yeekokk...

Sheilah Gashumba kirabika kati ye yeekwatiramu mu kukuba ebifaananyi

Malokwezza ne mukazi nga bajaganya

Tofiri Malokweza (92): Ayog...

Bw’OLABA omuntu ow’emyaka 92 tolemwa kutendereza Katonda ate ng’eno bwe weebuuza ekyama kye ekimusobozesezza okuwangaala....

Ziza Bafana

Ziza Bafana akubye oluyimba...

OMUYIMBI Ziza Bafana akaaba lwa bizibu na mabanja ge yaguddemu oluvannyuma lw’okumukwata ng’ava okuyimba e Tanzania....

Eyamezze abawanvu mu kamyuf...

OMUYIMBI Ziza Bafana akaaba lwa bizibu na mabanja ge yaguddemu oluvannyuma lw’okumukwata ng’ava okuyimba e Tanzania....

Eyamezze abawanvu mu kamyuf...

MARTIN Dorcus Mbabazi agamba nti ababadde bamuyita ekidomola oba ekikere olw’enkula ye kye kiseera bategeere amaanyi...