TOP

Eee.. laba ayambula Bebe

Added 24th December 2019

EKYANA kyasazeeko Bebe Cool ku siteegi e Busaabala ne kimusumulula essaati okulaba oba ddala ekifuba kye kiwera.

Bebe yasoose kubiyita bya kusaaga ng'ekyana ekyabadde kyesaze obugoye obulaga omubiri kimulumbye ku siteegi era baasoose kuzina kyokka yagenze okulaba ng'engeri gye kimukwatamu kirabika kirina ebirala bye kyetaaga.

Yakiwadde omukisa okukola ky'ayagala okukkakkana ng'atandise okumusumulula amapeesa wakati mu nduulu n'okwewuunya okuva mu banne. Wano abalala nabo we baalinnyidde ku siteegi nabo bamukwateko mu kifuba.

Bino byabaddewo ku Lwomukaaga e Busaabala ku Nuture's Green Resort Beach mu kivvulu ekyakoleddwa okwaniriza Captain Morgan mu Kampala nga kye kimu ku bika by'omwenge ebikolebwa aba Uganda Breweries.

Abayimbi abalala okwabadde Spice Diana, Kabako nabo baacamudde abadigize.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENS...

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa...

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

'Alina pulaani ku nguudo gw...

OKWETEGEKERA akalulu ka 2021, Vision Group etwala ne Bukedde ekoze okunoonyereza n'ezuula ebizibu ebiruma abantu...