TOP
  • Home
  • Kasababecca
  • Queen Tyra acamudde Minisita Nakiwala n'amusuubiza emitwalo 90

Queen Tyra acamudde Minisita Nakiwala n'amusuubiza emitwalo 90

Added 10th January 2020

Queen Tyra acamudde Minisita Nakiwala n’amusuubiza emitwalo 90

MINISITA w'abaana n'abavubuka, Florence Nakiwala Kiyingi, alonze ambasada ow'abaana owokubiri eyeegasse ku muyimbi Fresh Kid. Ono ye yakutte ekyokubiri mu mpaka z'Abannalulungi b'abaana abato eziyitibwa "Little Miss Uganda".

Tyra Abok 8, omuyizi mu ‘Galax International School' bwe yabadde ayanjulira minisita Nakiwala Kiyingi engule gye yafunye bwe yakutte ekifo ekyokubiri, yamuyitiddemu nga bw'agenda okuyamba ku minisitule ye okukwata obuyimba obuvumirira n'okulwanyisa abantu abatyoboola eddembe ly'abaana ekyamucamudde.

"Nnyabo minisita tukooye okwogera obwogezi nga tebalaga bikolwa era nsaba ompagire ne 900,000/- nkwate entambi zange zino abaana n'abazadde kwe banaalabiranga ne bamanya akabi akali mu kulinnyirira eddembe ly'abaana" bwatyo Queen Tyra Abok bwe yategeezezza minisita.

Queen Tyra yasoose kusaba minisita 700,000/- okukwata entambi ze, bwe yalabye nga minisita akkiriza okuzimuwa n'ayongerako nti naye maama mbadde njagala 900,000/- ekyasesezza minisita Nakiwala era nazo n'akkiriza okuzimuwa kubanga kye yabadde agenda okukola kigasa eggwanga.

Nakiwala yagambye nti ‘Queen Tyra' wadde yali waakubiri, obuvumu n'obumaliriza bw'alina okulwanirira eddembe ly'abaana kye yavudde amufuula ambasada wa minisita w'abaana nnamba bbiri era ng'agenda kutandiika okulonda ba ambasada okuva mu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mukyala Nsegumire nga yeetondera Mboize.

Aba NRM mu Kampala beeyuliz...

Olukiiko olwayitiddwa okutabaganya abeesimbyewo ku kkaadi y’ekibiina kya NRM mu Kampala Central n’abo baamegga...

Mwine Mukono

Mwine alina emisango mu kkooti

OMUBAKA wa munisipaali ya Mityana, Francis Zaake yaloopa DPC Mwine Mukono ne banne okuli RPC Kagarura n’abalala...

Mwine ng'ayogera eri abatuuze b'e Mityana abaali beekalakaasa.

Ebikolobero ebizze birondoo...

ABADDE aduumira Poliisi y’e Mityana, Alex Mwine Mukono eyaduumidde abaakubye ttiyaggaasi mu bannaddiini n’abeekika...

Ssentamu ng'asiiga langi ku ddame.

Bayize okukola ebitimbibwak...

HADIJAH Ssentamu akozesezza ekiseera ky’obulwadde bwa ssennyiga omukambwe okugatta obwongo n’abaako ky’ayiiya....

Ono oluggya yaluteekamu ebitebe abantu we bawummulira.

Engeri gy'osobola okukola s...

Oluggya bwe lusukka mu lumu ziba ziyitibwa empya era ebimu ku byafaayo byalwo mu Uganda lubadde lwakwewunda nga...