TOP

Mungobye ku kyalo naye nja kufa n'omuntu

Added 19th January 2020

Mungobye ku kyalo naye nja kufa n’omuntu

ALLEN Nazziwa ebintu bimwonoonekedde. Batuuze banne ne nnannyini mayumba kwabadde asula bamuvuddemu ne bamugoba ku kyalo.

Entabwe evudde ku bigambibwa nti alina empisa ensiiwuufu n'okusaasaanya empitambi mu myala gy'omu kitundu.

Nazziwa bwe yalabye ng'abatuuze bamutabukidde n'abamu ne bamuyisaamu empi yaddukidde ku poliisi y'oku Kaleerwe abagguleko omusango gw'okumukuba. Kino kyawalirizza Abraham Bbaale akwataganya poliisi n'omuntu waabulijjo okugenda okulaba ogubadde.

Abatuuze baamulumirizza okumokkola ng'atwaliddemu n'aba LC. Owa poliisi yabadde akyawooyawooya abatuuze naye Nazziwa n'amuwemula n'asoberwa ng'awoza nti teri kigambo kiva mu kamwa kibi.

Eky'okweyambira mu kiyigo yasoose kukyegaana ate oluvannyuma n'abasaba omusango baguteeke ku nnannyini nnyumba ataateekako kaabuyonjo. Yalabye bamugobera ddala nga tewali amuwolereza kwe kutabukira buli eyamwesimbyemu ng'awoza nti ajja kufa n'omuntu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sodo ne Shartsi

Muwala wa Kuteesa agaanyi o...

Muwala wa minisita w'ensonga z'ebweru Sam Kuteesa amanyiddwa nga Shartsi Musherure Nayebare agaanye okukkiriza...

Kaweefube okutaasa ekibira ...

AMAWULIIRE  | EKIBIRA KY'EBUGOMA  

Ssebaggala omu ku battiddwa

Abasudan ab'emmundu bawamby...

AKABINJA ka bannansi ba South Sudan ababagalidde emmundu bawambye Bannayuganda abavuga loole ezitwalayo amatooke,...

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...