TOP

Rema alangiridde bw'addayo ku yunivasite

Added 20th January 2020

REMA Namakula alangiridde nga bw’agenda okuddayo ku yunivasite e Kyambogo amalirize diguli ye omwaka guno oluvannyuma lwa bba Dr. Hamzah Sebunya okutikkirwa diguli y’obusawo.

Dr. Sebunya ne Namakula abagenyi baababuuzizza bafukamidde.

Dr. Sebunya ne Namakula abagenyi baababuuzizza bafukamidde.

Bya JOSEPH MUTEBI

REMA Namakula alangiridde nga bw'agenda okuddayo ku yunivasite e Kyambogo amalirize diguli ye omwaka guno oluvannyuma lwa bba Dr. Hamzah Sebunya okutikkirwa diguli y'obusawo.

"Mpulira essanyu nga mukyala Dr Sebunya okubeerawo ng'ajaguza okufuna ddiguli
y'obwadokita kubanga ekikwata ku Hamzah bweriba ssanyu tusanyuka ffenna, bwe bibeera bizibu tunyolwa ffembi era noolwekyo nze nange ng'omukyala nsazeewo omwaka guno nzireyo e Kyambogo mmalirize ddiguli yange," Rema bwe yategeezezza.

 ema ne amza nga bali wamu nabayizi abalala mikwano gya amza bwe baasomye Rema ne Hamza nga bali wamu n'abayizi abalala mikwano gya Hamza bwe baasomye.

 Bino Rema yabyogeredde ku kabaga ka bba Dr Sebunya ke yategekedde ku Mestil Hotel ku bitaala by'e Nsambya ku Lwokutaano nga keetabiddwaako abagagga b'omu Kampala okwabadde ssentebe waabwe Godfrey Kirumira, Hajji Hamis Kiggundu, Teopisita Nabbaale, Freeman Kiyimba n'abalala okwabadde badokita okuva e Mulago ne Sheikh Nuhu Muzaata.

Rema yeebazizza maama wa Hamzah, Hajjati Hanifah Kibirige okumuzaalira olulenzi olulungi olumanyi omukwano ogwa nnamaddala era n'ategeeza ababoogerera
nti tebalina kye bajja kukyusa okuggyako okunuuna ku vvu.

 ema ngakuba r ebunya oluuso Rema ng'akuba Dr. Sebunya oluuso.

 Kirumira yawadde Dr. Sebunya amagezi nti okusoma kulungi naye abadde amusaba
ne banne abatikkiddwa nti bwe babeera n'obusobozi bafeeyo nnyo okwetandikirawo emirimu ng'amalwaliro kubanga mu Uganda gakyali matono basobole okwongera okukendeeza ku bbula ly'emirimu.

 innie abiriizi wakati ema amakula gye yakolera okukyala kwe ne mikwano gye nga bali ku kabaga kamatikkira Winnie Mabiriizi (wakati) Rema Namakula gye yakolera okukyala kwe ne mikwano gye nga bali ku kabaga k'amatikkira.

 Dr Sebunya yagambye nti naye abadde akirowoozaako era engeri gy'amaze ddiguli ye ey'okutabula eddagala n'okulongoosa kati mu biseera bitono agenda kutandikawo
eddwaaliro lye ng'omuntu n'agamba nti ekirungi Katonda yamuwa omukono oguwonya abantu era basiima.

 amza ngagabula irumira ne mukyala we uzan wamu ne ajji amis iggundu ku ddyo Hamza ng'agabula Kirumira ne mukyala we Suzan wamu ne Hajji Hamis Kiggundu (ku ddyo).

 


Shiekh Muzaata yawadde abagagga amagezi okulyanga ku ssente zaabwe nga bakyali balamu kubanga beekuumira nnyo mu mbeera y'okwelyako enjawulo ate bwe bafa abaana baabwe ne batunda ebintu byabwe byonna ne biggwaawo.

v

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...

Poliisi ng'eri e Ssembabule okukkakkanya abalonzi ba NRM mu kamyufu gye buvuddeko

Abantu 45 be baafiiridde mu...

ABANTU 45 be bafiiridde mu buzzi bw’emisango obubaddewo wiiki ewedde obulese abalala 33 mu makomera.

Robert Kyagulanyi Ssentamu

DPP yeddizza omusango gwa K...

KKOOTI eggye enta mu musango gw'okulimba emyaka, munnamateeka Hassan Male Mabiriizi gweyawaabira omubaka wa Kyadondo...