TOP

Lutalo ekintu akyekwatiddemu

Added 20th January 2020

OMUYIMBI w’ennyimba za laavu, David Lutalo (ku ddyo) kirabika akooye bapulomoota okumulyako ssente.

Ku luno omwaka 2020 agutandikidde mu ggiya bwasazeewo okwetegekera konsati ye.

Lutalo ng'ali ne maneja we Ivan Lukwago abaasangiddwa ku situdiyo ya  Lutalo e Kabuusu ng'ali mu kutendekebwa baategeezezza nti ekivvulu kino kye batuumye, ‘‘David Lutalo Live in Tugende Concert'' bakitadde ku Hotel Africana nga January 31, 2020.

Okuyingira 20,000/-, 50,000/- n'emmeeza 3,000,000/-. Enkeera bagenda kubeera ku Colline Hotel e  Mukono ate nga February 2, bagende mu kisaawe e Luweero.

Lutalo yategeezezza nti ekivvulu kino baakiggye mu linnya ly'oluyimba lwe ‘‘Tugende'' .

Mu luyimba luno Lutalo abeera alaajanira omuwala gwe yali ayagala n'amuddukako kyokka ne baddamu ne basisinkana  n'amusaba batandikire we baakoma.

Lutalo yamanyika mu 2007 bwe yakuba oluyimba lwa Kapapaala olwamutunda mu bantu era azze alinnya okutuusa kati lwatuuse ku ntikko.

Ku Valentayini ali ku Freedom City e Namasuba. Ekivvulu kino kiwagiddwa Vision Group efulumya ne Bukedde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...