TOP

Ababadde basekerera Julie ku bya bba abatemye akakule

Added 25th January 2020

“ABABADDE banjogera ebigambo bibakalidde ku mimwa kati mundeke nfumbire omwami wange Ssekajugo omu bwati.”

Bwatyo omuyimbi Julie Heart Beat Ssemuga bwe yatabukidde abantu ababadde bamuyeeya okwanjula ekifaananyi oluvannyuma lwa bba omupya Sam Ssekajuko Musoke obutalabikako ku mukolo gw'okwanjula ogwaliwo mu December.

Musoke yatuukirizza obuvunaanyizibwa bwe bwe yagenze e Kiboga ne baddamu omukolo gw'okumwanjula mu butongole.

Wabula ku mulundi guno omukolo gwakoleddwa nga gwa kyama era gwetabiddwaako abantu ba lubatu nga baagukoledde munda mu nnyumba ng'okwanjula okutuufu okw'ennono bwe kubeera.

Ng'omukolo guwedde Julie yagambye Ssekajugo nga bw'abadde mu bulumi olw'ebigambo by'abantu ebibadde bimumazeeko emirembe.

"Mwami wange weebale kujja n'onzigyako ebigambo ebibadde byogerwa kubanga bibadde bingi ate nga bimpisa bubi lwa kusirika bagamba asirise teyejjuza osanga mu budde buno nandibadde mu ntalo n'abantu."

Ssekajugo yamukkakkanyiza bwe yamugambye okwesonyiwa aboogera n'amusuubiza okumwagala obulamu bwe bwonna n'okumukuba embaga mu December w'omwaka guno.

Kuno yagasseeko okumusaba amuzaalireyo abalongo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...