
Simon Kafeero (mu kifaananyi) ng'ono y'omu ku baana Kafeero be yaleka atandikidde ku Lukya Seavol gw'agamba nti yazzeemu oluyimba lwa ‘'Omwana w'omuzungu'' nga tafunye lukusa kuva mu ffamire.
Wabula Seavol agamba nti yazzeemu oluyimba olwo olw'omukwano gwe yalina ku Kafeero.
Agamba nti si kiwagi nga Simon Kafeero bw'ayinza okulowooza wabula ayagala kukuuma mukululo gwa mugenzi.