TOP

Valentayini ya 2019 yazza buggya laavu yaffe

Added 13th February 2020

SALIM Ssentongo ne Tarkia Nanyunja ab’ e Ndejje Kibutika bagamba nti omukwano gwabwe we batuukidde essaawa ya leero nga guli mu bire.

 Salim ne Tarkia lwe baagenda ku bizinga e Kalangala omwaka oguwedde.

Salim ne Tarkia lwe baagenda ku bizinga e Kalangala omwaka oguwedde.

SALIM Ssentongo ne Tarkia Nanyunja ab' e Ndejje Kibutika bagamba nti omukwano gwabwe we batuukidde essaawa ya leero nga guli mu bire.

Bino byonna bibala bya Valentayini ya 2019, Bukedde Ttivvi bwe yabawa omukisa ne bamala ennaku bbiri nnamba ku bizinga by'e Ssese nga beeraga amapenzi mu kalulu ka Valentayini Maseeyeeye.

Bano abaasangiddwa mu mukwano ogutiiriika ng'omubisi gw'enjuki baagambye nti mu kiseera we baagendera ku bizinga, Nanyunja yali lubuto era nti situlesi gye yalina mu kiseera ekyo yagenda okudda ng'ateredde.

 alim ne arkia ne bbebi waabwe Salim ne Tarkia ne bbebi waabwe.

 

"Embeera omukyala gy'ayitamu ng'ali lubuto etegeerekeka mukyala munne naye nze essanyu lye naggya ku bizinga mu bikujjuko bya Valentayini nagenda nalyo mu leeba kuba bwemba sirimbye ssaawulira na ku mwana bw'aluma ekyali kitambeerako," Nanyunja bw'anyumya.

Ssentongo obwedda ayogera nga bw'abuuza ekyana kye nti ‘Bbebi wamma nnimba ?', yannyonnyodde nti Valentayini y'omwaka oguwedde we yategeerera nti waliwo abantu abanyumirwa ensi y'omukwano.

"Nze nnali ssimanyi nti buli lw'otwala omukyala Valentayini ya 2019 yazza buggya laavu yaffe n'omucakazaamu omukwano gwammwe gw'ekubisaamu emirundi bukadde, era kino Bukedde ye yakinsomesa," Ssentongo bwe yagasseeko.

Bano baategeezezza nti essanyu lye baava nalyo ku bizinga n'okutuusa olwaleero likyabali ku mutima ate buli lwe batunula ku zzadde lye baafuna nga baakava mu bizinga buli omu ayongera okwagala munne era omwana waabwe baamuwa erinnya lya Afreem eritegeeza Obuzira.

Ne ku mulundi guno Bukedde TV ezzeemu okuteerawo abaagalana omukisa gw'okufuula Valentayini yaabwe eya 2020 ey'ebinnonoggo ng' ebazzaayo ku bizinga bye Ssese gye bagenda okumala ebiro bibiri nga beeraga laavu mu kye batuumye OMUHABATI KU KIZINGA.

Okuwangula, olina okwekuumira ku Bukedde TV bw'olaba oluyimba lwa Rema Namakula oluyitibwa CLEAR olwo ng'osindika obubaka mw'otadde erinnya lyo, gy'obeera, obudde kw'owuliridde oluyimba wamu n'obugambo obusuusuuta omwagalwa wo, osindike ku peegi ya Bukedde Tv.

Anaasinza obugambo obuwoomu y'ajja okuwangula n'omwagalwawe. Osobola okukuba essimu mu pulogulaamu ya Kayisanyo n'owaana omwagalwa wo era abanaasinga okuwaana ebijuujulu byabwe be bajja okuwangula. Bino biwagiddwa aba Brovad Sands Louge e Kalangala, Beats by Deryk ne Delight Decors ng'okuwangula kugenda mu maaso okutuusa wiiki esemba mu February

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu