TOP

Ffembi twazaalibwa ku Valentayini

Added 13th February 2020

Olunaku Kaitesi lwe yanziramu nti ‘I Love you too’ nasula seebase. Omutima gwatandika okunkubira okumukumu n’ebirowoozo ne byesomba.

 Tadius ne Juliet nga bali ne bbebi waabwe.

Tadius ne Juliet nga bali ne bbebi waabwe.

EBINTU bingi ebibaawo mu bulamu ebyewuunyisa. bya Lawrence Mukasa 

Laavu ky'ekimu ku bintu ebisinga okufuga obulamu bw'abantu era omuntu bw'afuna munne ng'emitima gyabwe gikubira wamu awo babeera baddembe okubera bonna.

Tadeo Ddamba n'omwagalwa we Juliet Kaitesi ab'e Kireka bagamba nti baasisinkana mu 2014 ku dduuka eritunda essimu, Ddamba we yali akolera n'atandika okumwogereza okumala emyezi 8 naye nga Kaitesi akyeremye.

"Mu September natandika okuwulira nga Kaitesi ankandaalirizza nnyo ne njagala mmwesonyiwe so nga bambi ate we nnali nkooyedde ate nga ye w'asumululidde omutima gwe.

Olunaku Kaitesi lwe yanziramu nti ‘I Love you too' nasula seebase. Omutima gwatandika okunkubira okumukumu n'ebirowoozo ne byesomba.

Nalwawo okukikkiriza nti yali anzikirizza era nga mwetegefu okubeera nange.

Twatandika okumanyaganya mu nnaku ezaddako era eno gye twazuulira nti olunaku lwe twazaalibwa lwe lumu ate nga lwe lunaku lwennyini olw'abaagalana nga February 14 okuggyako emyaka gye gyawukana.

Olunaku luno buli lwe lutuuka buli omu abeera alwesunga nga mbaga era tubeera mu mpaka z'ani asinga okulaga munne amapenzi anti ebirabo tubigabana kyenkanyi.

Ye Kaitesi agamba nti ekimu ku bisinga okumwagaza olulenzi lwe kwe kuba nti lumufaako nnyo ate nga lumanyi n'omukwano, ‘mu butuufu omusajja atamanyi laavu ne bw'abeera ne ssente atama'.

Bano buli Valentayini lw'etuuka babeera n'emikolo ebiri egy'okukuza omuli olw'abaagalana n'olwamazaalibwa gaabwe.

Ono era ayongerako nti tagenda kwerabira Valentayini ya 2017 kwe yafunira olubuto lwa muwala waabwe Alma Favor Ddamba gwe balina kati era ono agamba nti ekiro ekyo kijja kulwawo okumuva ku mutima.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...