
Nabawanuka ali mu nnaku.
MARGARET Nabawanuka ow'e Kireka ku Railway mu Divizoni y'e Namugongo mu Munisipaali y'e Kira g'akaaba g'akomba.
Agamba nti omusajja yamutundira mu maka ate n'assaako n'okubuzaawo omwana we era kati ali mu kusoberwa.
Nabawanga agamba yasisinkana bba Peter mu 2013 nga yali kasitoma we mu bbaala ye mu kitundu kino era ne bagwa mu mukwano.
Yantongoza nga mukyala we n'antwala mu makage.
Mu nnyumba nasangamu muggya wange ne tutandika okufumba.
Agamba omusajja olwamala okumuteeka mu maka n'atandika okubatulugunya ne muggya we ng'abakuba n'obutabawa buyambi kyokka nga n'obusente bw'akola mu bbaala abumuggyako n'abutwala.
Nabawanuka yazaala omwana omulenzi nga kati alina emyaka 6 kyokka yamumuggyako.
‘'Nasalawo ne ngumira embeera ey'okusoomoozebwa yonna gye nnali mpitamu mu bufumbo.
Muggya wange gwe nnasanga mu maka yalaba embeera y'okumukuba taagisobole kwe kusibamu ebibye n'agenda n'abaana be n'atulekawo n'omwana wange.
Omwaka oguwedde mu March mbeera ndi waka ne wabaawo omwami eyajja n'alagira tuve awaka nti agenda kumenya ennyumba yaffe ayagala kukozesa kifo kye.
Awo kwe kukimanya nti omusajja yali yatutundira mu nnyumba.
Omusajja oluvannyuma yandagira nkwatemu ebyange n'omwana wange nnoonye awokudda kwe kufuna akayumba ku muliraano ke mpangisa ne nteeka omwo ebintu byange n'omwana olwo omusajja n'agenda mu makage amalala.
Nabawanuka agamba nti gye buvuddeko omusajja yajja w'abeera ekiro n'atwala mutabani we. Yamunoonya n'amuzuula ng'amutadde e Kakiri n'amuggyayo wabula yasula ekiro kimu n'addamu n'amubuzaawo era kati tamanyi bimukwatako.
Yamulaalika nga bw'ataliddamu kumulabako okutuusa lw'alifa. Nabawanuka asaba minisita w'abaana n'abavubuka, Nakiwala Kiyingi okuyingira mu nsonga ze alabe ng'omusajja amuddiza omwana kubanga akyali muto.
Omwana yali afunye abamuwa bbasale, asome nga bamusasulira Asaba abasomi ba Bukedde n'abazirakisa okumuyamba asobole okufuna obwenkanya. Asaba na buyambi okusasula ennyumba mw'asula ng'ali ku ssimu nnamba 0705 414 896.