TOP

Aziz wangoba kati oyagala nkusiime biki

Added 25th February 2020

OMUYIMBI Eddy Kenzo addizza Aziz Azion omuliro olw’okumulangira nga bwe yamuyamba n’atamusiima n’agamba nti Aziz bw’aba ayagala kumusiima amunoonyeko wabula agenda akimanyi nti ye (Kenzo) bwe yali akyabeera ewa Aziz yakola emirimu mingi nga kumpi alinga mupakasi.

Byatandise wiiki ewedde, Kenzo bwe yabadde e Kololo n'ategeeza nti bwe yali akyabeera ewa Aziz, yamugoba mu nnyumba mwe yali amusuza nga talina ky'amukoze kati yeewuunya eby'okumusasula by'ayogerako.

Kenzo eyabadde ku Happy Boys e Busega ku Ssande yategeezezza nti talina buzibu na Aziz wabula amwewuunya mu kifo ky'okumutuukirira mu buntu ate agenda amwogerera amafuukuule.

Yamujjukizza nti nga bwe yamwegobera bwe baali bakyayimba bombi mu ngeri y'emu yamulinda dda olunaku lw'alimuyita amwetondere olw'okumugobera obwereere baddemu bakolagane wabula takikolanga.

Aziz agamba nti Kenzo y'alina okumwetondera olw'obutasiima bye yamukolera bwe yali atandika okuyimba nga Aziz amukubira ebidongo n'okumusuza wabula n'amuwaayiriza nga bwe yamugoba ng'ate tamugobangako

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...