TOP

Abagambibwa okukuba Bebe Cool obucupa babayimbudde

Added 11th March 2020

POLIISI ya Jinja Road eyimbudde abavubuka 11 be yakutte nga bateeberezebwa nti be baakubye Bebe Cool obucupa mu kivvulu kya Cindy Sanyu e Lugogo ku Lwomukaaga.

 Bebe Cool ng’ayogera n’abaayimbuddwa. Sheebah yeetondedde nnyina olw’ennyambala ye

Bebe Cool ng’ayogera n’abaayimbuddwa. Sheebah yeetondedde nnyina olw’ennyambala ye

Okuyimbulwa kyaddiridde Bebe okubasonyiwa n'agamba nti ayagala babeere ekyokulabirako eri bavubuka bannaabwe abeeyisa bwe bati nga bagufudde muze okukuba abayimbi abawagira NRM obucupa mu bivvulu.

Ekyokulabirako Bebe ky'ayogerako kya kubasonyiwa gusoose ate ogusembye nti bwe baliddamu ne bakwatibwa basibira Luzira.

Bebe eyabadde ku poliisi ya Jinja Road ku Lwokubiri, yabuuliridde abavubuka bano ng'abasinga baategeezezza nga bwe batalina mirimu nti babe bagumiikiriza kubanga ne bwe giba mirimu bajja kugifuna kasita beekuuma nga balamu n'okwewala okwenyigira mu bikolwa ebikyamu.

Yategeezezza nti yatuukiriddwa bazadde baabwe, bakyala baabwe n'abeηηanda abalala nga balaajana babayimbule kwe kusalawo akikole nga bwe yasabiddwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...