TOP

Chameleone atandise enteekateeka z'okwebuuza ku bantu

Added 12th March 2020

JOSEPH Mayanja (Jose Chameleone) (owookubiri ku ddyo) atandise enteekateeka ze ez’okwebuuza ku bantu mu magombolola ag’enjawulo mu Kampala.

Ono yatandikidde Nakawa gye yasisinkana Mmeeya waayo Ronald Balimwezo. Bwe yavudde eno n'asisinkana Mmeeya w'e Makindye Ali Nganda.

Mu kafubo ke baabaddemu baayongedde bingi bye basuubira okukola okutereeza ekibuga n'okukulaakulanya Kampala.

Mpozzi n'engeri gye bayinza okuyambamu Bannakampala okulaba nga beekulaakulanya.

Joseph Mayanja yategeezezza Bammeeya nti ayagala abeere omukulembeze w'ekibuga agonjoola ensonga eziruma Bannakampala ezaalemwa okukolebwa abakulembeze ababaddewo.

Chameleone yeebazizza Bammeeya bano era n'abasuubiza nti nga ye owa DP, agenda kukozesa obukugu bw'alina okulaba nga ba kkansala ba DP beeyongera n'okutumbula omutindo gw'ekibuga.

Chameleone yakomekkerezza ebigambo bye ng'agamba nti akyeyongera okutalaaga amagombolola ag'enjawulo nga Kawempe, Lubaga n'ebitundu ebirala.

Mu kaseera katono agenda kukyalako ku City Hall mu kaweefube w'okusala empenda okulaba nga tufuna ekibuga ekyeyagaza ate nga balamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...