TOP

Chameleone ne Bebe Cool bazzeemu okwesojja

Added 17th March 2020

OLUTALO lw’abayimbi Bebe Cool ne Chameleone ate lusitudde buto. Kino kiddiridde Bebe Cool okugaana mutabani we okukola oluyimba ne Chameleone.

Bino bizzeewo oluvannyuma lwa Chameleone okutegeeza nga Bebe Cool bw'akoze ekinene okulemesa mutabani we Allan Hendrick Ssali okufuuka omuyimbi ow'erinnya kyokka ng'alina obusobozi ne bwamuwa buwi kkolabo emuwanika waggulu era bwaba tasobodde kugimuwa akkirize ye Chameleone agimuwe.

"Hendrick wama nkugamba nga ‘kyali' wange nange ndi kitaawo, ebya ba daddi ne daddi tobiyingiramu ebyo bya bakulu tojja kubisobola.

Jangu tugende tukube eng'oma tukole vidiyo zaffe eza layisi si ziri eza muzeeyi wo.

Tujja kugikola ne muzeeyi wo agirabe akkirize nti mukubye eng'oma." Chameleone bwe yagambye.

Wabula bino olugudde mu matu ga Bebe Cool n'agamba nti tasobola kukkiriza mutabani we kukola luyimba ne Chameleone kuba buli muzadde alina engeri gy'akuzaamu abaana be, ye Bebe Cool ababe agezaako okubakuza ng'abalaga nti balina okwetakulira so ssi kulowooleza mu bazadde kubawa.

Ayongeddeko nti wadde abasobola okweyambisa erinnya oba embeera eyeetooledde kitaabwe okubaako kye bakola n'okufunamu, mutabani atandika okukola oluyimba ne Chameleone omuyimbi omunene terugenda kumuyamba, amuleeke ayite mu mitendera emituufu gy'alina okuyitamu nga yeetakulira okutuusa bwanaatuuka waggulu.

KYADDAAKI abawagizi b'omuyimbi Lillian Mbabazi nnamwandu w'omugenzi Mowzey Radio bafunye ku ssanyu oluvannyuma lw'omuyimbi waabwe okuddamu okulinnya ku siteegi.

Ono yabadde ku mukolo ogumu ku Serena Hotel ng'abalimi basiimibwa olw'ebyo bye batuuseeko mu myaka 10 egisembyeyo.

Yasuubizza abawagizi be nga bw'akomyewo omwaka guno okulaba nti addamu okufulumya myuziki gwe baali banyumirwa.

Abadde amaze emyaka nga takyayimba wadde okufulumyayo akapya ate omugenzi Radio bwe yafa, ekintu n'akiviiramu ddala.

Mbabazi yagambye nti abadde alina ebimuwuuba ng'okulabirira omwana we kale nga kizibu okukwasaganya ebintue byo byonna omulundu gumu.

Mbabazi alina ennyimba nga, Ddagala, Love Letter, Memories lwe yayimba ne A pass, Kankutwale n'endala. Ann Taylor asekeredde abamuyeeya obutafumbirwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...