TOP

Jjuuko azzeemu okukuba Brenda emiggo n'anoba

Added 17th March 2020

MU October wa 2019, omusuubuzi Martin Jjuuko yasiba mukazi we ku miguwa n’amukuba ng’amulanga bwenzi.

MU October wa 2019, omusuubuzi
Martin Jjuuko yasiba mukazi we ku
miguwa n'amukuba ng'amulanga
bwenzi. Bino byali mu maka gaabwe
e Kiruddu ku lw'e Salaama. Ate
mu December wa 2019 yakyala mu
bakadde gye yeetondera n'alayira
obutaddamu kukuba mukyala
we. Agavaayo gagamba nti Jjuuko
yazzeemu okukuba mukazi we
Brenda Namuyomba. Wiiki ewedde
Namuyomba yazze mu Bukedde nga
bwe yadduka ewa Jjuuko ng'assusse
okumukuba emiggo. Jjuuko ye
nnanyini maduuka ga Praise
Shops ku MM Plaza ku Luwum
Street ne Ham Shopping Mall
ku Nakivubo era Namuyomba
y'omu ku bagakolamu. Jjuuko
agamba nti eno abasajja gye
baamusanga ne bamukwana.
Ku mulundi ogwasooka Jjuuko
okukuba Namuyomba, ebifaananyi
ng'amulizze emiguwa
yabyesaasaanyiza ku "facebook".
Okuvaayo mu kukyala,
Jjuuko yaleka awadde ku
ntandikwa y'omwezi gwa May,
okuddayo Namuyomba amwanjule
mu butongole.
Wabula wabadde wabulayo
emyezi ebiri Jjuuko ayanjulwe
Jjuuko azzeemu okukuba
Brenda emiggo n'anoba
nga bwe yasuubiza ate n'asumulula
obusungu obupya n'amuggunda. Teyazzeemu
kumusiba miguwa era yabadde
talina binuubule nga biri ebyasooka
naye yabadde akaaba ng'alina ebitundu
ebizimbye bye yayise ebikonde. Omu
ku mikwano gya Namuyomba yategeezezza
nti Jjuuko yazzeemu n'amukuba
bubi nnyo ku nkomerero ya February
ng'amuvunaana bwenzi.
Yagembye nti obuzibu bwa Jjuuko alina
ebbuba lingi nnyo ng'era buli musajja
gw'alaba ayogera ne Namuyomba
amumwagaza.
JJUUKO ANNYONNYODDE
Jjuuko yakkiriza nga mukazi we bwe
yazzeemu okunoba kyokka n'awakanya
eky'okumukuba. Yakimutaddeko nga bwe
yazzeemu okumukwata n'ebifaanannyi bya
baganzi be so nga bwe baava mu kukyala
bakkaanya n'amuwa n'ennamba z'essimu
empya enkadde ne zisuulibwa ku kasasiro.
"Omukazi oyo mwenzi, alina abasajja bangi
nga n'abamu bamukwanira ku dduuka
lyange wennyini era bwiino yenna mulina,"
Jjuuko bwe yagambye.
Jjuuko yagambye nti bwe baava mu kukyala,
yamala awaka ennaku bbiri n'agenda e
China okusuubula nti kyokka bwe yakomawo
n'akebera mu ssimu ya Brenda gye yali
yakamugulira n'asangamu ebifaananyi nga
yeekutte n'abasajja mu ngeri eyoomukwano
ekintu ekyamutabula.
Jjuuko agamba nti ku mulundi guno teyamukubako
wabula bwe yamunenyaako n'asiba
ebintu n'adduka. Mu basajja Juuko baasinga
okulumiriza okumusigulira omukazi mulimu
Fahad era ateebereza nti gye yanobedde.
Waliwo n'omugagga alina ekifo ekisanyukirwamu
ku Hoima Road.
MIKWANO GYA JJUUKO GYOGEDDE
Mukyala Saadah Nassuuna, yagambye nti
bwe baava mu kukyala, baatuula mu nsonga
zaabwe ezibatabula ne bazikkaanyako era ye
abadde asuubira nti buli kimu kiri bulungi.
Nassuuna yagambye nti mu kiseera kino
abantu bano kye basobola okukola ensonga
zaabwe kwe kuzituulamu n'abamu ku bantu
abakulu okuva ku njuyi zombi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Munnayuganda abadde amansa ...

“Bannayuganda abasukka mu 20 be baakafa Corona e South Africa okuli; Caroline Nantongo abadde amanyiddwa nga Hajjati...

Gav't etumizza ekyuma ekyey...

GAVUMENTI etumizza ekyuma ekifulumya kemiko ezeeyambisibwa mu kukebera obulwadde bwa Corona n’endwadde endala....

Male Mabirizi

Mabirizi attunse ne Ssaabaw...

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi asabye kkooti ya East Africa ezzeewo ekkomo ku myaka gya pulezidenti kubanga palamenti...

Kabaka tebagenda kumukongoj...

KABAKA Mutebi II si wakukongojjebwa ng’Obuganda bukuza amatikkira ge ag’omulundi ogwa 27 olw’okutya okusasanya...

Ow'emifumbi eyagobeddwa mu ...

OMUZANNYI w’emifumbi Geoffrey Lubega eyagobeddwa mu nyumba olw’okulemererwa okusasula ensimbi z’obupangisa adduukiriddwa....