TOP

Izon T nga bamutaddeko embooko

Added 19th March 2020

OMUYIMBI Izon T bamukubyeko embooko y’omuyimbi omulala amanyiddwa nga Wonellah.

Okusinziira ku Lady Snear (ku kkono) nga ye maneja w'abayimbi bano bombi, eky'okuleeta Wonellah (ku ddyo) tekitegeeza nti Izon T (mu katono) yaggwaamu wabula akikoze olw'okussaawo okuvuganya okw'amaanyi mu bayimbi be bonna.

Ono agaanye n'ebigambo ebibadde biyitiηηana nti baayawukana ne Izon T n'agamba nti akyakola nga maneja wa Izon T era nga n'ekiwandiiko ekibagatta kikyaliko era kiraga nti akyali mu kibiina kya Snear Music.

Yawaanye Wonellah nga bwali omuyitirivu mu kukuba emiziki nga yasoose n'akayimba ka "Kassuukali". Izon T nga bamutaddeko embooko NG'OGGYEKO entujjo ya komedi etuumiddwa ‘Comedy kalakata' okuteeka abawagizi ku bunkenke, ne bakazannyirizi buli omu awera kulagako ku munne.

Abantu beesunga entujjo eno etegekeddwa ku Bivally Hill e Kansanga ku Lwokutaano luno nga March 20, nga bagamba nti "ddala eno egenda kubeera kalakata…" Entujjo eno ewomeddwaamu omutwe Godi Godi owa Bukedde Fa Ma ekuηηanyizza bakazannyirizi ab'amannya mu ggwanga era bano bagenda kuttunka olwo abawagizi basalewo ani asinga. "Kino tekibangawo.

Godi Godi ku luno mbaleetedde bakazannyirizi abalala okuli; MC Mariachi, Maurana ne Reign, Madrat ne Chiko, Kapale, Jjajja Bruce, Alex Muhangi, Snake & Zoolo n'abalala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bbebi gwe baasudde mu ddwaaliro

Omusajja acankalanyizza edd...

OMUSAJJA acankalanyizza eddwaliro bw'atutte bbebi n'amusuulira abasawo nga abalumiriza obutakozesa bukugu ekyaviirako...

UNRA bataddewo amaato okuso...

ABATUUZE mu ggombolola y'e Galiraaya mu disitulikiti y'e Kayunga ababadde batakyasobola kutambula olw’oluguudo...

Mmeeya Balimwezo ng’ayogera n’abamu ku basuubuzi b’omu katale k’e Nakawa.

Kaabuyonjo y'akatale k'e Na...

EYALOGA omugagga Haruna Ssentongo tannassa mbugo! Anti bamututte mu kkooti nga bbanka ya Orient emubanja obuwumbi...

Maj. Kakooza Mutale asuze k...

MAJ Roland Kakooza Mutale n’ekibinja ky'abajaasi be Basuze ku malaalo ga Kasirye Ggwanga nga bamukungubagira nebamutendereza...

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...