TOP

Gwe nnalonda ekkubo yankolako effujjo

Added 21st March 2020

NZE Ronald Nejjo. Siyinza kwerabira omuwala gwe nnalonda ekkubo ne mutwala ewange. Yankolako effujjo katono linzite.

NZE Ronald Nejjo. Siyinza kwerabira omuwala gwe nnalonda ekkubo ne mutwala ewange. Yankolako effujjo katono linzite.

Ndi mugoba wa bboodabbooda ku Kalerwe ng'omuwala gwe nategeerako erya Nakalema namwegomba bwe nali muvuga ku bbooda nga muggya ku Kaleerwe okumutwala e Bwaise gye yahhamba nti yali agenda wa mukulu we .

Namusaba nsuleko naye kye yakkiriza nga bbooda eyali etunudde e Bwaise nga ngiweta ngizza wange Kanyanya twesanyuse.

Yasooka kunsaba 20,000/- zaanaakozesa ng'akomawo okugenda ewa mukulu we.

Namusaba agumiikirize kuba ssente nnali sizirina era bwetyo ne tutuuka awaka naye ng'antadde ku nninga ayagala ssente.

Nasooka ne mbiyita eby'olusaago nga ndowooza nti osanga yali asaaga kumbe yali ategeeza ky'ayagala.

Namusaba asigaleko mu nnyumba hhende mmufunire ekyokulya ne ssente ze yali agambye.

Naye olwokuba nnali simwesiga bulungi nga ntya okunziba, nnasalawo okumusibira mu nnyumba.

Namalayo eddakiika nga 30 kyokka nagenda okudda ng'omuwala aswakidde ng'ambuuza akyamunsibisizza mu nnyumba.

Yantegeeza nga bwanyiize era agenda olwo ng'akutte ensawo ye mu ngalo n'ayagala okufuluma nga tayagala nkwate na ku nsawo ye.

Nayita munnange annyambeko ne tumuggyako ensawo era tugenda okukebera nga mulimu empale zange ssatu ng'ayagala kugenda nazo mu nsawo y'omu ngalo.

Kye saamanya nti yali yeesabise dda ebintu ebirala omuli kkamera ya mukwano gwange ne 5,000/- ezaali wansi wa ttivvi era bino twabijjukira luvannyuma ng'amaze okugenda.

Wabula nagenda okuwulira ng'ennyumba ewunya bulala era tugenda okukebera ng'omuwala ono yalese ayonoonye mu ttawulo yange ne mpulira nga nzigwerera.

N'okutuusa kati omuwala ono nkyamutenda era siyinza kumwerabira. Bwetyo ne ndayira obutaddamu kulonda kkubo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embeera y'amasiro nga bwegali mu kiseera kino

Omuwanika wa Buganda Waggwa...

OMUMYUKA ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda,Robert Waggwa Nsibirwa bwe yabadde asoma embalirira...

Abakozi abakolera mu Owino balaajanidde Gavumenti ku mmaali yaabwe

Abakolera mu Owino balaajan...

ABASUUBUZI abakolera mu katale ka St.Balikudembe balaze obutali bumativu olw'abeebyokwerinda okubagaana okutaasa...

Eyafumitiddwa ebiso nga bw'afaanana

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Nnamwandu Sarah Nassiwa ng'akungubagira bba

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Ronald Kyobe ng'alaga emmwanyi ze. Ebifaananyi bya Ssennabulya Baagalayina

Abalimi b'emmwanyi e Lwaben...

ABALIMI b'emmwanyi mu ggombolola y'e Lwabenge e Kalungu kwe basinzidde okusaba Gavumenti nti tekoma kubakunga wazira...