TOP

Mikwano gya Evelyn Lagu beerangidde

Added 26th March 2020

Mikwano gya Evelyn Lagu beerangidde

 Maama Uganda (Nannyonga) ne Nassolo.

Maama Uganda (Nannyonga) ne Nassolo.

OLUTALO lubaluseewo wakati wa mikwano gy'omuyimbi Evelyn Lagu. Kirabika baamulabyeko omulyo Pulezidenti Museveni bwe yawaddeeyo omusimbi okumujjanjaba.

 Ku Lwomukaaga, Balaam Barugahara eyakazibwako erya Ssaabavvulu yafunye ssimu okuva ewa Lt. Gen. Proscovia Nalweyiso emulagira nti Pulezidenti yabadde asazeewo Evelyn Lagu atwalibwe mu ddwaaliro lya Nakasero ayongere okufuna obujjanjabi obusinga ku obwo bw'abaddeko mu kalwaliro akatono e Zzana ku lw'e Ntebe.

Balaam yakubidde mikwano gya Lagu okuli Ritah Penny ne Sophie Love abaamuvuze ne bamumusanza e Nakasero ne bamukwasa abasawo okumujjanjaba.

Ku Mmande, mikwano gya Lagu abalala; omuyimbi Phoebe Nassolo ne Maama Uganda baabituddemu ne bayomba nga bagamba nti Balaam ne banne abaatutte Lagu mu ddwaaliro baabayiseemu kubanga omulimu ogwo be baabadde balina okugukola.

Bagamba nti be baalaajanira Pulezidenti okuyamba Lagu. Nassolo alaalise okwabya Balaam gwe yayogeddeko ng'eyeeyita atuusa abantu ewa Pulezidenti nti n'ogwo omulimu yagwewadde naye ng'ate ye (Nassolo) ne Maama Uganda ng'amannya ge amatuufu ye Josephine Faith Nannyonga be bandigukoze.

Ritah ne Sophie balumiriza Nassolo ne Nannyonga okwagala okufunira mu bulwadde bwa Lagu nga bagamba nti bwe baba nga nabo baali basaba Pulezidenti kuyingirawo kuyamba mulwadde, ate lwaki badda mu by'okwabya bannaabwe abaamutuusizza mu ddwaaliro mu kifo ky'okusanyuka nti nabo kye baali baagala kyekyo kyennyini ekyakoleddwa.

Nannyonga agamba nti ekimuluma be bandibadde bafuna obubonero kubanga be baasooka n'okuleeta kkamera eyalabisa Lagu ewa Pulezidenti bwe baali ne Afande Mbabazi eyatuusa ensonga zaabwe ew'omukulembeze w'eggwanga wabula Balaam yabayisizzaawo n'abyesooka.

Nassolo agamba nti teyeewuunya Balaam kubanga n'ebya Jackie Chandiru, yamala ebbanga ng'amujjanjaba mu ddwaaliro e Nagulu kyokka Balaam bwe yatuuka okumukwatako yasooka kuyita baamawulire kwemulisa.

Wabula Balaam yabaddizza omuliro bwe yategeezezza nti enkola ya Pulezidenti, omuntu omu ayinza okusaasaanya amawulire wabula Pulezidenti bw'atuuka okukola, asobola obutafaayo ku ani yasooka okulaba omulwadde n'akozesa oyo yennyini gw'alowooza nti ajja kutuukiriza ebigendererwa bye obulungi.

Evelyn Lagu alumizibwa ekibumba, ensigo, amawuggwe n'ebintu ebirala eby'omunda ebiyamba omuntu okubeera omulamu wabula Ritah ne Sophie abakkiriziddwa okumulabako baategeezezza nti ali bulungiko wadde ng'abasawo tebakkiriza kumulaga bantu olwa coronavirus.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Matia Lubega eyabula ku bakadde be

Eyabula kati emyezi ebiri y...

Omwana eyabula kati emyezi ebiri nga n'okutuusa kati tannamanyikako mayitire yeeraliikirizza bazadde be nga bagamba...

Omuwala atuuyanidde mu ofii...

OMUWALA agambibwa okubba ensimbi emitwalo 290,000/= ku muvubuka yakiguddeko omuvubuka bwe yamuguddeko mu Kampala...

Ensi kuyiiya: Wuuno nnamuka...

ABAVUBUKA bangi banyooma emirimu olwo ne badda mu kwekubagiza nga bwebatalina mirimu n’obwavu obubalemesa okubaako...

Ensi ekalubye omukazi ow'em...

Nansubuga agamba ku myaka 75 asoboola okwetuusaako buli kimu.

Dr. Diana Atwine n'abakulu abalala nga balambula eddwaaliro

Dr. Atwine alagidde eddwali...

MINISITULE y'ebyobulamu ekkirizza eddwaliro ly'e Kayunga erimaze emyaka ebiri nga liddaabirizibwa litandike okujjanjaba...