TOP
  • Home
  • Kasalabecca
  • A Pass yeegobye mu luyimba lwa Bebe Cool olwa Corona Distance

A Pass yeegobye mu luyimba lwa Bebe Cool olwa Corona Distance

Added 3rd April 2020

A Pass atabukidde Bebe Cool ku luyimba lwa ‘Corona Distance’, amulanga kumugattika na Fresh Daddy gw'ayita kazannyirizi era nti yalemesezza oluyimba lwabwe okufuuka hiti.

 A Pass

A Pass

A Pass atabukidde Bebe Cool ku luyimba lwa  ‘Corona Distance', amulanga kumugattika na Fresh Daddy gw'ayita kazannyirizi era nti yalemesezza oluyimba lwabwe okufuuka hiti.

Ono kati ayagala oluyimba luddibwemu nga Fresh daddy talimu oba sikyo ekitundu ye kyayimba kiggyibwemu.

Oluyimba luno olugendereddwaamu okusomesa n'okukubiriza abantu okwewala okukwatibwa ssennyiga omukambwe owa COVID-19 lulimu n'abayimbi abalala okuli; Vinka, Fresh Kid, Azawie, Paper Daddy ne John Blaq.

 

A Pass agamba Bebe Cool we yamutuukirira n'ekirowoozo ky'okukola oluyimba ku coronavirus ng'ali wamu n'abayimbi abalala, yakyaniriza era nasituukiramu okugenda ku situdiyo ya Bebe Cool okuteekamu amaloboozi ge mu luyimba luno.

"Saamanya nti mu bayimbi abalala Bebe Cool bayogerako mwe muli ne Fresh daddy. Olunaku lwe nagenda ku situdiyo okukwata amaloboozi gange omusajja oyo (ategezza Fresh daddy) namulabako awo nga ndowooza azze kulambula kifo kubanga situdiyo mpya naye kyanewuunyisa okuwuuliriza oluyimba nga luwedde nga naye mwali."

Yagasseeko nti "Bebe Cool nkuwa ekitiibwa naye njagala okimanye nze ndi muyimbi wa ggwanga siyimba na bakadingo nga Fresh Daddy. Gwe tewebuuza lwaki oluyimba olulimu abayimbi abamannya terukubwa nnyo? Yandibadde hiti buli wamu naye lwa Fresh Daddy.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Agugulana ne KCCA atiisizza...

HAJJI Rashid Ssenyonjo Musisi atiisizza okukung'anya famire ye batuule mu luguudo ompi n'amayumba ge e Lweza...

Trump anywezezza ebyokwerin...

Abaserikale abamukuuma beebulungudde White House okuva mu ggye erimanyiddwa nga The Washington, DC National Guard,...

 Mwamula Juma, the UPTU General Secretary speaking the press in Kampala. Looking on is a member of UPTU. Courtesy photo

Uganda Private Teachers Uni...

Mwamula Juma, the UPTU General Secretary said the government directive is more of a populist voice than a realistic...

 Kayiwa

Munnamakolera asabye Gav't ...

MUNNAMAKKOLERO Steven Kayiwa nga y'akiikirira Bannamakkolero mu lukiiko lwa Buganda olukulu asabye gavumenti eyawakati...

Bagabidde abakozi b'Abachin...

MINISITULE y'ebyobulamu egabidde abakozi mu b'omu nnimiro z'abachina abalimira omuceere mu Lwera n'abavubi b'oku...