TOP
  • Home
  • Kasalabecca
  • Ensonga za Full Figure ne Bajjo ziwanvuye: Kkooti eragidde Full Figure yeewozeeko mu nnaku 15

Ensonga za Full Figure ne Bajjo ziwanvuye: Kkooti eragidde Full Figure yeewozeeko mu nnaku 15

Added 21st April 2020

Ensonga za Ful-figure ne Bajjo ziwanvuye, kkooti ewadde Ful-figure ennaku 15 okuwaayo okwewoozaako kwe mu musango Bajjo gwe yamuwawaabidde ogw'okumwonoonera erinnya bw'atakikola kkooti egamba ejja kugenda mu maaso n'okutuula emuwe ekibonerezo.

 
Bino okubawo kidiridde Andrew Mukasa amanyiddwa nga Bajjo omutegesi w'ebivvulu okugenda mu kkooti enkulu mu Kampala gye yaloope Jennifer  Nakangubi amannyiddwa Full-Figure omusango gw'okumwonoonera erinnya ng'amwogerako kalebule.
 
Bajjo agamba nti Full-Figure asusse okumwogerako kalebule nga yeeyambisa emikutu gy'amawulire ng'amulumba ng'omuntu.
 
Gye buvuddeko Bajjo ng'ayita mu bannamateeka be, aba Balikuddembe & company, bawandiikidde Full Ffigure ebbaluwa nga bamulabula nga bw'agenda okumutwala mu kkooti ssinga takomya bikolwa bya kumulumba n'okumwogerera amafuukuule.
 
Mu bbaaluwa eno bannamateeka ba Bajjo balaga nti ng'ennaku z'omwezi April 1,2020, Full-Figure ng'asinziira ku ttivi emu, yayogera ebigambo eby'obulimba ku linnya lya Bajjo ng'omuntu omuli okugamba nti "Bajjo yanzaalamu omwana n'agaana okumulabirira ate nga mulwadde enjala bwetamutta obulwadde bugenda ku mutta.
 
Ayongerako nti Bajjo y'omu ku bapulomoota abeetaga okuweebwa obuyambi era akubirizza gavumenti emutwale emugezesezeeko eddagala lya coronavirus kubanga talina makulu. Akwanakwana nnyo obuwala, abadde asula mu loogi naye kati baazigadde talina wa kusula."
 
Bagamba nti ebigambo bya Full-Figure tebyakoma ku kya kutattana n'okunafuya omuntu waabwe amanyiddwa ng'omutegesi w'ebivvulu ow'amaanyi mu ggwanga, 
 
Yamusiga n'ekifaananyi ky'omuntu atalina ky'asobola kukola n'ekigendererwa ky'okumwonoona mu bantu abasobola okumuwa bizinensi.
 
Bagattako nti Full-Figure aswazizza nnyo omuntu waabwe n'okumwonoonera erinnya nga kati abantu bamulabira mu kifaananyi kikyamu.
 
Bano balagira Full-Figure yeetondere Bajjo mu lujjudde ne ku Ttivvi kwe yasinziira okumulumba amuliyirire obukadde 500 olw'okumwonoonera erinnya n'eza bannamateeka obukadde bubiri.
 
Bajjo agamba nti wadde baali bawadde Ful-figure omukisa okwetonda okulaba nga ensonga bazimalirizza mu mbeera ey'abantu abakulu, 
 
Ful-figure akyagenda mu maaso n'okumwogerako kalebule kwe kusalawo okwongerayo ensonga mu kkooti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Kiwanda nga yeetegereza Tiger ezaaleteddwa.

Minisita Kiwanda asabye aba...

Minisita w'ebyobulambuzi Godfrey Kiwanda Ssuubi asabye abavubuka, abakuumaddembe n'abeesimbyewo okwogera n'okukola...

Katosi ng’afumba enkoko gy’atundira ku mutimbagano.

Atundira enkoko ku mutimbag...

UMAR Uthuman Katosi ow'e Kyanja, ssente azinoga ku mitimbagano era annyonnyola bwati ku bizinensi ye; Nnali mulunzi...

Abakinjaagi mu lufula ya Old Portbell nga bajjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu.

Ennyama tugiridde twesunze ...

ABAKINJAAGI nga bakulembeddwa abakulira, Hajji Muhammad Ssekweyama mu lufula ya Port- Bell Road beebazizza Bukedde...

Nobert Mao

Mao bamulemesezza okwogera ...

Ttiyaggaasi n'amasasi byayanirizza Nobert Mao mu kibuga ky'e Kamuli olwo abantu abaabadde bakung'aanye okumuwuliriza...

Amuriat (wakati) ng’ayamba ku batuuze b’e Nyamuyanja e Isingiro okukola bulungibwansi.

Amuriat anunudde ddereeva w...

PATRICK Oboi Amuriat agumbye ku poliisi e Mbarara okutuusa lwe bayimbudde omu ku baddereeva be eyabadde akwatiddwa...