
BBIICI y'omubaka mu Palamenti ya East Africa, Fred Denis Mukasa Mbidde esaliddwako amazzi g'ennyanja Nabugabo nayo etandise okubooga.
Mbidde naye abadde omu ku bayinvesita e Masaka abatandiseewo ebifo by'abadigize okuliraaamu kaasi ku nnyanja Nabugabo.
Ono abadde akyagizimba naye amazzi tegamuganyizza, ennyanja bw'etandise okweddiza amatwale gaayo ag'edda ng'enkuba bw'eteesalako akyayinza okukifuuwa ng'akizza munda.





