TOP
  • Home
  • Kasalabecca
  • Nze Bad Black ssinga nnali nkola bya bwereere nandisuze mu kalina ng'eno?

Nze Bad Black ssinga nnali nkola bya bwereere nandisuze mu kalina ng'eno?

Added 16th June 2020

BAD BLACK akalambidde ku ky’okumusasula ssente z’akalango ka corona. Agamba nti ssinga abadde akolera bitole bya mmere oba kale iyite eby’obwereere ssinga tasula mu maka ag’ebbeeyi g’alimu.

Bad Black n'amakaage

Bad Black n'amakaage







"Njagala okutegeeza minisita w'eby'obulamu n'abalala be kikwatako nti nze Shanitah Namuyimbwa amanyiddwa nga Bad Black si nze Charity okukola eby'obwereere nga bwe bagamba. Buli omu akimanyi nti Bad Black ndi mukyala mukakaalukanyi era okutuuka wendi ne bye nnina mbadde nkola era sikolerangako bya bwereere"

Black okwogera bino yabadde mu maka mwasula ag'ebbeeyi agasangibwa e Butabika okuliraana eddwaaliro ly'e Butabika ku Mmande ng'ayanukula aba minisitule abagamba nti akalango akakubiriza abakyala banneekolera gyange okwewala abavuzi ba ttuleera n'ebimmotoka by'amaguzi ebirala mu kaweefube w'okulwanyisa coronavirus yakola ka bwereere mu nkola eya mwoyo gwa ggwanga era tasuubirwa kusasulwa ssente yonna.

Black eyabadde ne bannamateeka be okuli; Robert Rutaro Muhairwe, Asuman Matovu ne Joy Daphne Ndegemo aba Musangala Advocates & Solicitors yagambye nti si waakutuula okutuusa nga bamuwadde obukadde 500 z'ayagala bamusasule ne ssente endala obukadde 50 olw'ebyo Kasalabecca by'ayiseemu.

Eddiiro ly'ennyumba ya Bad Black

Agamba yakola obulango bwa mirundi ebiri okuli aka masiki nga kano ke k'obwereere kyokka ak'okukubiriza abakyala banneekolera gyange kaali ka kusasulwa era ku kano baamusuubiza n'okumutwala ewa pulezidenti ng'akulira abakyala bano bamunoonyeze n'obululu kubanga alina abagoberezi abasuuka mu bukadde 2.

Ono yatuuse n'okulaga ebyambalo by'ekibiina kya NRM okuli; essaati n'enkofi ira by'agamba nti oluvannyuma lwa Tendo Renox Kisembo owa Precision media okumutuukirira n'amusomera ddiiru eno, yamutwala ew'omuwanika wa NRM, Rose Namayanja eyamuwa engoye zino era ne bamusuubiza nti by'ajja okwambala nga bamutwala ewa Pulezidenti Museveni.

Ono agamba nti ku lwa Gavumenti yeesiga abantu bonna abamutuukirira y'ensonga lwaki teyakola nabo ndagaano ya buwandiike.

Bannamateeka be nga bakulembeddwa, Robert Rutaro Muhairwe baategeezezza nga bwe bamaze okuwandiikira buli gwe kikwatako mu nsonga eno era balindiridde kulaba ng'omutu waabwe asasulwa.

"Black si mulalu okumala g'ogera nti baamusuubiza okumusasula, bameka abavuddeyo ne boogera nga Black?

Bad Black ng'ali ne bannamateeka be

Bad Black era asaba gavumenti emuwe Fuso z'ebijanjaalo n'akawunga ze bamusuubiza okuwa abakyala b'akulembera kubanga nabo bamuli bubi era balowooza yabirya.

AMAKA GA BAD BLACK

Ggoloofa eno kw'okomya amaaso Black agamba Omuzungu taata wa bbebi we ye yagamugulira ng'amuzaalidde.

Black amaze ebbanga mu bulamu obw'okweyiiya okuva lwe yayawukana n'eyali muganzi we David Greenhalgh eyali amugulidde amaka e Munyonyo kyokka bwe baayawukana n'agatunda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Adam Mulwana eyayimba Toka kwa Balabala.

Eyakubira Besigye oluyimba ...

MUSAJJA wa Dr. Kiiza Besigye, Adam Mulwana eyamuyimbira oluyimba lwa “Toka kwa bala bala” lwe yakozesa mu kulonda...

Nabilah ng’alaga empapula ze. Ku ddyo, Nabilah ng’alaga empapula ze.

Ensonga lwaki aba Nabilah b...

ABAWAGIZI ba Erias Lukwago abaabadde mu mijoozi gya FDC baawalabanyizza Nabilah Naggayi n’abawagizi nga bwe babagamba...

Akeedi

Ziizino akeedi ezitatuusa b...

Abagagga bano abataayagadde kubaatuukiriza mannya baategeezezza nti, baabasindikidde obubaka ku ssimu nga babagamba...

Madoi

Wakiso Giants egoba bw'eyin...

WAKISO Giants FC mu liigi ya babinywera eyongedde okwenyweza nga yeetegekera sizoni ejja 2020/21 bw’ekansizza...

Vialli Bainomugisha

Onduparaka ereese Bainomugisha

ONDUPARAKA FC mu liigi ya babinywera etandise kaweefube w’okwetegekera sizoni ejja 2020/21 bw’ewaludde abadde omutendesi...