TOP

Cindy eby'engule y'omuyimbi w'omwaka bimuyombya

Added 17th June 2020

OMUYIMBI Cindallera Sanyu (ku ddyo) amanyiddwa nga Cindy atabuse lwa bategesi ba mpaka z’okuyimba eza Zzina Awards obutamuwa ngule ya muyimbi asinze okuyimba mu mwaka gwa 2019-2020 ne bagiwa Spice Diana.





Abategesi b'empaka zino balabye embeera ya coronavirus eremeddeko tebasobola kutegeka mukolo ogw'awamu okukwasa abawanguzi engule zaabwe, baasazeewo abawanguzi kubalangirira nga bayita ku mikutu gyabwe egya sosolo midiya.

Kenzo akyalemedde mu Ivory Coast yeeriisizza nkuuli.

Yawangudde engule nnya okwabadde n'ey'omuyimbi w'omwaka. John Blaq yawangudde ey'omuyimbi omusajja asinze okuyimba ate Spice Diana ye yawangudde eky'omuyimbi aliko (Best Contemporary Urban Artist) ssaako abayimbi abalala.

Wadde ne Cindy yawangudde engule bbiri okuli omuyimbi wa Dancehall n'oluyimba lwa Dancehall ono teyamatidde. Yatuuse n'okugamba nti nze abantu kasita bamanyi kyendi era omwaka 2019 gwantambulidde bulungi nnyo n'okulaga nti Cindy ndi muyimbi wa kabi olw'obuwanguzi obwenjawulo bwe natuuseeko.

Yagasseeko nti kino ekyakoleddwa tekimumazeemu maanyi kubanga abantu abatono abatudde mu ofi isi yaabwe ne balonda abawanguzi tebasinga abantu 40,000 abajja mu kivvulu kyange ku Cricket Oval.

Omu ku mikwano gya Cindy ataayagadde kumwatuukiriza mannya agamba ekyasinze okunyiiza Cindy kwe kuwa Spice Diana engule y'omuyimbi omukyala asinga ate nga ye Cindy engule ebbiri ze yawangudde n'amaanyi ge yalaga ku kivvulu kye ekyaliwo mu March byabadde bimuwa enkizo ku ngule eno.

Gye buvuddeko Cindy abadde mu lutalo ne Sheebah nga buli omu agamba ye muyimbi omukyala asinga okuyimba mu kiseera kino kale obutamuwa ngule eno ate ne bagiwa Spice abawagizi be abamu bagamba kyamumazeemu amaanyi.

Cindy obwedda ayomba ng'eno Spice n'abawagizi be bajaganya ssaako bayimbi banne okuli ne Chameleone (ku kkono) okumuyozaayoza olw'obuwanguzi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...

Omubaka Kato ekyenda bakizz...

OMUBAKA Kato Lubwama owa Lubaga South asulirira kusiibulwa oluvanyuma lw’ekyenda ekibadde kikuumirwa ebweru w’olubuto...

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...