TOP

Ekibiina kirumbye Bad Black ku bya ssente

Added 24th June 2020

ABEEKIBIINA ky’eddembe ly’obuntu batabukidde Bad Black ne bamalaaya abaagala okufuna ssente za gavumenti kyokka nga bye bakola biri mu bumenyi bw’amateeka.

Bad Black

Bad Black









Gideon Tugume akulira ekibiina kya Human Rights Defenders Association (HURIDA) mu kiwandiiko kye yafulumizza yategeezezza nti ennyingo 136, 137, 138 ne 139 mu tteeka ziraga bulungi nti obwa malaaya musango era ne yeewuunya lwaki poliisi teyongera maanyi mu kugakwasisa.

Yagambye nti kyali kikyamu okukkiriza Shanita Namuyimbwa amanyiddwa nga Bad Black okukola akalango akakunga bamalaaya obutasemberera bavuzi ba lukululana kubanga abantu be yali akunga bamenyi ba mateeka abeetaaga okukwatibwa obukwatibwa.

Yagambye nti ne Bad Black eyakkiriza ng'atwaliddwa mu kkooti nti yali akola bwa malaaya, talina kuweebwa mwagaanya nga guno kubanga ekifaananyi kye mu bantu kyayonooneka ate nga tavangayo mu lwatu kuvumirira muze guno oguleetedde eggwanga ebizibu ebingi.

Tugume yagasseeko nti ayagala akalango ako kayimirizibwe mu bwangu era n'alaalika okutwala abali emabega w'akalango ako mu kkooti singa kasigala nga kagenda mu maaso ku mpewo.

Bad Black abadde agamba nti abanja minisitule y'ebyobulamu obukadde 500 ez'akalango ke yakuba ng'akunga bamalaaya okwewala abavuzi ba lukululana baleme kukwatibwa n'okusaasaanya Corona. Kyokka bwe yabadde akwasibwa bbokisi egambibwa nti yabaddemu ssente z'abanja yagambye nti entalo azikomezza kubanga yafunye kye yabadde alwanirira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...

Omubaka Kato ekyenda bakizz...

OMUBAKA Kato Lubwama owa Lubaga South asulirira kusiibulwa oluvanyuma lw’ekyenda ekibadde kikuumirwa ebweru w’olubuto...

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...