TOP

Abaana b'omugenzi Kafeero ensonga bazitutte wa Museveni

Added 29th June 2020

ABAANA ba Paul Kafeero bazitoowereddwa ensonga za kitaabwe ne bazitwala ewa Pulezidenti Museveni azibakolereko.

Omugenzi Paul Kafeero

Omugenzi Paul Kafeero





Abaana bano abali mu ntegeka esisinkana Pulezidenti era baddizza omuliro bakitaabwe ne baganda baabwe abaabatutte mu kkooti nga babalanga okutunda ebintu bya Kafeero nga bagamba nti ebiruubirirwa byabwe mu kwagala okuziikula Kafeero bya kwezza byabugagga bye nga beerimbisa mu kumugyako obutaffaali okumanya obuzaale bw'abaana.

Omu ku baana ba Kafeero, Thomas Kafeero Swazinigger nga y'omu ku baana abana abaawaabiddwa okutunda ebya Kafeero nga tebalina buyinza bannaabwe abalala 10 ne batafunamu ate nga tebabakkirizza yategeezezza Bukedde nti baasaba Balaam Barugahara eyabafunira looya, Mohammed Mbabazi abayambako ku by'obutaziikula Kafeero abatuuse n'ewa Museveni alemese abaagala okumuziikula.

Omu ku bataata b'abaana bano, Joseph Mugerwa muto wa Kafeero eyayambye ku baana okuwaabira bannaabwe abaatunda ebintu mu bukyamu yategeezezza nti yawulidde nti ensonga za Kafeero zaatwaliddwa ewa Museveni kyokka ye alowooza nti za kika kyabwe.

"Nawulidde nti ne Museveni yabazzeemu nti engeri gye biri mu kkooti, basooke balinde ebinaasalibwawo." Thomas Kafeero yategeezezza Bukedde eggulo nti bulijjo bagamba abantu nti abamu ku bataata baabwe naddala Abubaker Nende mutabani wa Ssalongo Umar Nanganga era eyagenda mu kkooti n'agisaba okuziikula Kafeero y'omu ku bantu ababatabudde nga waliwo abatakitegeera.

Agamba nti era y'omu eyayambye abaana okutwala ekiwandiiko mu kkooti enkulu ng'abaana 10 bawawaabira bannaabwe abana (Thomas ali ku bana) nti baatunda ebintu bya Kafeero mu bukyamu.

"Abaagala okuziikula kitaffe baagala byanfuna si kumanya buzaale bw'abaana bali abalala abagambibwa nti si ba Kafeero kati bw'olaba ekiwandiiko mwe baatuwawaabiridde nti twatunda ebintu bya taata tolaba nti bintu bye boogerako.

Baawaabye nti baagala bye twatunda biddizibwewo ssinga ekyo kye boogera ne balema kwerimbika mu kya kuziikula taata ng'ate bwe bamala okukikola baagala byanfuna." Thomas bwe yategeezezza eggulo.

Yagasseeko okwewuunya lwaki beesiba ku bintu bya Kafeero bye bagamba nti byatundibwa kyokka nga bakimanyi nti bwe biba byatundibwa era byatundibwa abaana abatuufu.

Yagasseeko nti bw'aba Mzee Umar Nanganga, taata wa Nende y'azaala Kafeero, yeewuunya lwaki bamwogerako nga Nanganga eyali omugagga kyokka tebalina kya bugagga kye balaga kitaabwe nti yakirekera Kafeero.

"Lwaki baagala okugabana ku by'obugagga bya kitaffe nga tebaagala be bayita bazzukulu ba Nanganga kufuna kintu kyonna kye bayita ekya Nanganga?" Thomas bwe yabuuzizza.

Thomas yakubye oluyimba lwe yatuumye Abayikuuzi lw'agamba nti abaagala okuziikula kitaawe babbi. Agamba nti Nanganga ye yatwala ebyuma bya bbandi ya Kulabako kyokka bo baabaleka ate kati be babatutte mu kkooti!

Wabula Nende agamba nti eby'okuziikula Kafeero bikyagenda mu maaso n'olunaku baalulonze naye kati bali ku musango ogwawaawaabiddwa abaana 10 nga bawaabira bannaabwe abana abeekebeza ne bagamba nti bannaabwe abo si ba kika kyabwe.

Yagambye nti bwe waba waliwo abaagala okuziikula Nanganga okukakasa oba y'azaala Kafeero, takirinaako buzibu bagende kkooti ebawe olukusa bakikole kuba ekya kitaawe (Nanganga) okuba nga y'azaala Kafeero tekiriiko kubusibwabuusibwa.

"Njagala abaana baffe bonna muganda waffe Kafeero nga bwe yabazaala bamanyike ate bagabane ebyabwe nga si bantu bamu na bamu. N'ekyobuzaale nga bamuziikudde n'aggyibwako obutaffaali, kya kutuyamba okumanya abaana abatuufu bafune ebyabwe nga kitaabwe bwe yandikyagadde," Nende bwe yagambye.

Omusango gwawawaabiddwa mu kkooti enkulu nga 25 June, 2020 ng'abaana abo baagasseeko n'akola ku nsonga z'abafu gwe balumiriza okulemererwa okuwabula abaana abo abaatunda ebintu nga tebalina buyinza ne bagabana nga bannaabwe abalala tebalina kye bamanyi.

Ku baawaabirwa ne Thomas kw'ali ng'abalala kuliko Benedict Kafeero, Nagawa Kafeero ne Simon Kafeero. Ebyatundibwa kuliko yiika z'ettaka 25 e Masaba-Nkokonjeru mu Buikwe Kafeero gye yaziikibwa mu May wa 2007.

Ennyumba y'amaka ga Kafeero e Kajjansi okuli n'emizigo egisoba mu 10 ne kalonda omulala abaana 10 gwe baagala abawawaabirwa bannyonyole bwe baabitunda na b'ani abaabigula.

Bino era bizze oluvannyuma lw'abaana ba Kafeero okugenda ne baggyibwako omusaayi ne bazuula nga kuliko bana bokka abatuufu abalala abasukka mu 10 ne gulaga nti si ba Kafeero.

Abana baatandika okutunda ebintu kati bannaabwe 10 bye bagamba nti baabitunda mu bukyamu.

ABAANA ba Paul Kafeero
bazitoowereddwa ensonga
za kitaabwe ne bazitwala
ewa Pulezidenti Museveni
azibakolereko.
Abaana bano abali mu
ntegeka esisinkana Pulezidenti
era baddizza omuliro
bakitaabwe ne baganda
baabwe abaabatutte mu
kkooti nga babalanga okutunda
ebintu bya Kafeero
nga bagamba nti ebiruubirirwa
byabwe mu kwagala okuziikula
Kafeero bya kwezza byabugagga
bye nga beerimbisa mu kumugyako
obutaffaali okumanya obuzaale
bw'abaana.
Omu ku baana ba Kafeero, Thomas
Kafeero Swazinigger nga y'omu ku
baana abana abaawaabiddwa okutunda
ebya Kafeero nga tebalina
buyinza bannaabwe abalala 10 ne
batafunamu ate nga tebabakkirizza
yategeezezza Bukedde nti baasaba
Balaam Barugahara eyabafunira looya,
Mohammed Mbabazi abayambako
ku by'obutaziikula Kafeero abatuuse
n'ewa Museveni alemese abaagala
okumuziikula. Omu ku bataata
b'abaana bano, Joseph Mugerwa muto
wa Kafeero eyayambye ku baana
okuwaabira bannaabwe abaatunda
ebintu mu bukyamu yategeezezza nti
yawulidde nti ensonga za Kafeero
zaatwaliddwa ewa Museveni kyokka
ye alowooza nti za kika kyabwe.
"Nawulidde nti ne Museveni yabazzeemu
nti engeri gye biri mu kkooti,
basooke balinde ebinaasalibwawo."
Thomas Kafeero yategeezezza Bukedde
eggulo nti bulijjo bagamba abantu
nti abamu ku bataata baabwe naddala
Abubaker Nende mutabani wa Ssalongo
Umar Nanganga era eyagenda
mu kkooti n'agisaba okuziikula Kafeero
y'omu ku bantu ababatabudde
nga waliwo abatakitegeera.
Agamba nti era y'omu eyayambye
abaana okutwala ekiwandiiko
mu kkooti enkulu ng'abaana 10
bawawaabira bannaabwe abana
(Thomas ali ku bana) nti baatunda
ebintu bya Kafeero mu bukyamu.
"Abaagala okuziikula kitaffe baagala
byanfuna si kumanya buzaale
bw'abaana bali abalala abagambibwa
nti si ba Kafeero kati bw'olaba ekiwandiiko
mwe baatuwawaabiridde nti
twatunda ebintu bya taata tolaba nti
bintu bye boogerako.
Baawaabye nti baagala bye twatunda
biddizibwewo ssinga ekyo kye
boogera ne balema kwerimbika mu
kya kuziikula taata ng'ate bwe bamala
okukikola baagala byanfuna." Thomas
bwe yategeezezza eggulo.
Yagasseeko okwewuunya lwaki
beesiba ku bintu bya Kafeero bye
bagamba nti byatundibwa kyokka nga
bakimanyi nti bwe biba byatundibwa
era byatundibwa abaana abatuufu.
Yagasseeko nti bw'aba
Mzee Umar Nanganga,
taata wa Nende y'azaala
Kafeero, yeewuunya
lwaki bamwogerako nga
Nanganga eyali omugagga
kyokka tebalina kya
bugagga kye balaga
kitaabwe nti yakirekera
Kafeero.
"Lwaki baagala okugabana
ku by'obugagga
bya kitaffe nga tebaagala
be bayita bazzukulu ba
Nanganga kufuna kintu
kyonna kye bayita ekya
Nanganga?" Thomas bwe yabuuzizza.
Thomas yakubye oluyimba lwe
yatuumye Abayikuuzi lw'agamba nti
abaagala okuziikula kitaawe babbi.
Agamba nti Nanganga ye yatwala
ebyuma bya bbandi ya Kulabako kyokka
bo baabaleka ate kati be babatutte
mu kkooti!
Wabula Nende agamba nti
eby'okuziikula Kafeero bikyagenda mu
maaso n'olunaku baalulonze naye kati
bali ku musango ogwawaawaabiddwa
abaana 10 nga bawaabira bannaabwe
abana abeekebeza ne bagamba nti
bannaabwe abo si ba kika kyabwe.
Yagambye nti bwe waba waliwo abaagala
okuziikula Nanganga okukakasa
oba y'azaala Kafeero, takirinaako
buzibu bagende kkooti ebawe olukusa
bakikole kuba ekya kitaawe (Nanganga)
okuba nga y'azaala Kafeero
tekiriiko kubusibwabuusibwa.
"Njagala abaana baffe bonna
muganda waffe Kafeero nga bwe
yabazaala bamanyike ate bagabane
ebyabwe nga si bantu bamu na bamu.
N'ekyobuzaale nga bamuziikudde
n'aggyibwako obutaffaali, kya kutuyamba
okumanya abaana abatuufu
bafune ebyabwe nga kitaabwe bwe
yandikyagadde," Nende bwe yagambye.
Omusango gwawawaabiddwa mu
kkooti enkulu nga 25 June, 2020
ng'abaana abo baagasseeko n'akola
ku nsonga z'abafu gwe balumiriza
okulemererwa okuwabula abaana
abo abaatunda ebintu nga tebalina
buyinza ne bagabana nga bannaabwe
abalala tebalina kye bamanyi.
Ku baawaabirwa ne Thomas kw'ali
ng'abalala kuliko Benedict Kafeero,
Nagawa Kafeero ne Simon Kafeero.
Ebyatundibwa kuliko yiika z'ettaka
25 e Masaba-Nkokonjeru mu Buikwe
Kafeero gye yaziikibwa mu May wa
2007. Ennyumba y'amaka ga Kafeero
e Kajjansi okuli n'emizigo egisoba mu
10 ne kalonda omulala abaana 10 gwe
baagala abawawaabirwa bannyonyole
bwe baabitunda na b'ani abaabigula.
Bino era bizze oluvannyuma
lw'abaana ba Kafeero okugenda ne
baggyibwako omusaayi ne bazuula
nga kuliko bana bokka abatuufu
abalala abasukka mu 10 ne gulaga nti
si ba Kafeero. Abana baatandika okutunda
ebintu kati bannaabwe 10 bye
bagamba nti baabitunda mu bukyamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Adam Mulwana eyayimba Toka kwa Balabala.

Eyakubira Besigye oluyimba ...

MUSAJJA wa Dr. Kiiza Besigye, Adam Mulwana eyamuyimbira oluyimba lwa “Toka kwa bala bala” lwe yakozesa mu kulonda...

Nabilah ng’alaga empapula ze. Ku ddyo, Nabilah ng’alaga empapula ze.

Ensonga lwaki aba Nabilah b...

ABAWAGIZI ba Erias Lukwago abaabadde mu mijoozi gya FDC baawalabanyizza Nabilah Naggayi n’abawagizi nga bwe babagamba...

Akeedi

Ziizino akeedi ezitatuusa b...

Abagagga bano abataayagadde kubaatuukiriza mannya baategeezezza nti, baabasindikidde obubaka ku ssimu nga babagamba...

Madoi

Wakiso Giants egoba bw'eyin...

WAKISO Giants FC mu liigi ya babinywera eyongedde okwenyweza nga yeetegekera sizoni ejja 2020/21 bw’ekansizza...

Vialli Bainomugisha

Onduparaka ereese Bainomugisha

ONDUPARAKA FC mu liigi ya babinywera etandise kaweefube w’okwetegekera sizoni ejja 2020/21 bw’ewaludde abadde omutendesi...