TOP
  • Home
  • Kasalabecca
  • Oba kiki ekyatuuka ku nnyumba ya ambaasada Alintuma Nsambu?!

Oba kiki ekyatuuka ku nnyumba ya ambaasada Alintuma Nsambu?!

Added 1st July 2020

ABATAMBUZE abayita ku kyalo Nkuke mu ggombolola y'e Buwunga mu Masaka bebuuza ekyatuuka ku y'Ambasada era eyaliko minisita omubeezi owa ICT John Chrysostom Alintuma Nsambu obutamaliriza maka ge n'agakomya mu kkubo okugalekera emisota,emisu,emmese n'ebiringa ebyo okwegiriisirizaamu.

Ennyumba esangibwa ku luguudo lwa Naluzaali-Kyannamukaaka ng'eriraanidde ddala amaka omukulu ono ge yazimbira bazadde be kyokka go ganyirira okuggyayo ekifaananyi nti wabeerawo abantu.

Nsambu yakiikirirako abantu b'ekitundu kino ekya Bukoto East mu Paalamenti okumala ebisanja bibiri n'aggyibwayo munna DP Florence Namayanja Mukasa n'oluvannyuma Nsambu n'avuganyako mu Bukoto South kyokka n'awangulwa owa DP Nsubuga Birekerawo kati omugenzi.

Pulezidenti azze alonda Nsambu ku bwa Ambasada nga yamusookeza mu Canada nga mu kiseera kino y'amutuma  Algeria mu lijoni emanyiddwa nga Maghreb region.

Wabula endabika y'ennyumba ey'ekitiibwa,omukulu gye yali azimbye ku butaka y'etakuza emitwe gy'abayise nga bebuuza ekyanyiiza munna NRM, Ambasada Nsambu obwenkanidde awo agiveeko nga tagimaliriza.

Bagamba nti ssente ssi ze zaamubula kubanga bo ng'abe Nkuke bamujjukirako eky'okubazimbira ekizimbe eky'akalina ku ssomero lyabwe ery'e Nkuke Ps n'akimaliriza nga tebalawo nsonga y'andimulemesezza kumaliriza maka ge.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...