TOP
  • Home
  • Kasababecca
  • 'Bakitaffe mutusabire essaala abatwesimbyeko baleme kutuggya mugaati mu kamwa'

'Bakitaffe mutusabire essaala abatwesimbyeko baleme kutuggya mugaati mu kamwa'

Added 7th July 2020

BAKITAFFE tusabayo essaala ennafuya bonna abatwesimbyeko baleme kutuggya mugaati mu kamwa nga batuwangudde!!!!Abakulembeze mu Kalungu disitulikiti bassizzakimu nga bafukamira mu maaso ga bakabona ba Katonda.

Dr. Keefa Kamya ng'asabira abantu

Dr. Keefa Kamya ng'asabira abantu





Okusaba kwayanjuddwa mukama waabwe Ssentebe wa LCV Richard Kyabaggu eyasabye Omusumba wa Masaka Severus Jjumba amusabireyo essaala ey'enjawulo asobole okusigaza entebe n'ekisanja ekijja.

Omusumba Mujumba olw'akkirizza obuyinza bw'okwolekeza Katonda essaala n'abukwasa munne omulabirizi wa West Buganda eyawummula Dr Keefa kamya Ssemakula.

Wano Kyabaggu yawenyezza ku bakulembeze banne bonna olwo ne bafukamira mu maaso ga Bakabona essaala n'ekoya era olw''obwetaavu bw'okusigaza ebifo bwabeerabizza n'okwewa amabanga olw'ekirwadde kya COVID 19.

Baabadde ku kitebe kya disitulikiti e Kalungu ng'abantu abalala baawuliddwa bagereeza nti 'wamma Binaisa yali mutuufu entebe ewooma"

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Nabakooba

Abawala b'amassomero abafu...

OMUWENDO gw’abaana abato abafuna embuto mu kiseera ky’omuggalo gw’okwerinda obulwadde bwa ssenyiga gweyongedde...

Wakiso Giants esudde 2

WAKISO GIANTS FC mu liigi ya babinywera esazizzaamu endagaano z’abasambi babiri ezibadde zibuzaako emyaka ebiri...

Janet Museveni asimbudde tt...

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni asibiridde entanda ttiimu y’eggwanga ey’abaddusi bw'abade agisimbula...

Abakulembeze baloopedde Kis...

ABATUUZE mu Kisenyi n’abasuubuzi abatundira ebyamaguzi ku nguudo balaajanidde dayirekita wa Kampala omuggya Dorothy...

Amasannyalaze gakubye babir...

Entiisa yabuutikidde abatuuze ku kyalo Wantoni mu Mukono Central division, Mukono munisipaali, abasajja babiri...