TOP

Ebya Kafeero okuziikuulwa byongedde okulanda

Added 15th July 2020

ABAANA ba Paul Kafeero bana bapangisizza looya omupya okubawolereza mu musango ogwabawawaabiddwa bannaabwe 10. Abaana 10 baagala Kafeero aziikulwe aggyibweko ebyetaagisa okukakasa obuzaale bwabwe.

Paul Kafeero

Paul Kafeero






Abaana 10 abagambibwa nti si ba Kafeero baagala aziikulwe bakakase, n'ebintu bya Kafeero ebyatundibwa nabyo binunulibwe. Kuliko Martin Kafeero, Stella Namuli, John Mark Kafeero, Tony Kafeero, Cate Nalukwago, Tracy Namuddu 15, Aron Kafeero 16, Tina Birungi Namugerwa 15, Bridget Nalukwago 15, ne Joan Mirembe Nantongo.

Kyokka abaana abana okuli Simon Kafeero, Thomas Kafeero Swazinigger, Elizabeth Nagawa ne Benedicto Kafeero bapangisizza kkampuni ya bannamateeka eya Nalukoola Kakeeto Advocates & Solicitors' babawolereze.

Bagamba nti bannaabwe 10 baakeberwa ne kizuulwa nga si baana ba Kafeero noolwekyo tebalina we basinziira kumuziikula kubanga tebamulinaako kakwate.

Bino biddiridde abaana 10 okuwawaabira bannaabwe abana nga bakozesa kkampuni ya M/S Luzige, Lubega, Kavuma & Co. Advocates. Baasaba kkooti erangirire nti bonna abaagula ebyobugagga bya Kafeero baagula mpewo kubanga abaabaguza tebalina buyinza. Ebyobugagga kuliko amaka e Kajjansi, ettaka e Kyaggwe lya yiika 27, ettaka e Busansula mu Buikwe eriwerako yiika 12 n'ekibanja e Masaaba.

Abaana 10 era baasaba kkooti eragire abo bonna abagambibwa okuba abaana ba Kafeero bayitibwe baddemu bakeberebwe. Kkooti y'e Mengo yalagira baziikule Kafeero basobole okumufunako endagabutonde kyokka ekkumi baagala okumanya oba nga waliwo ekkubo eddala mwe bayinza okuyita baleme kutaataaganya mufu.

Ofiisi ekola ku nsonga z'abafu nayo bagigasse ku bawawaabirwa nga bagiranga okulemwa okukuuma ebyobugagga bya Kafeero ne bituuka okutundibwa.

Kyokka abaana abana bagamba nti abawaabi tebalina nsonga erimu ggumba kwe basinziira kubaggulako musango era baagala kkooti egugobe. Kafeero yafa mu May 2007 n'aziikibwa e Masaba-Nkokonjeru mu Kyaggwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...