TOP

Ebya SK Mbuga ne mukyala we Jalia Mbuga bibuzaabuza

Added 15th July 2020

JALIA Vivian Mbuga yasoose kuvaayo ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Face book n’avumirira ebikolwa by’obutabanguko mu maka. Wadde yabadde tayogera linnya lya muntu yagasseeko okulabula nti:

Mbuga ne Vivian

Mbuga ne Vivian







Nga bwe waayingira mu mukutu gwange ogwa Instagram ne guno guyingirire'. Wano abantu baatandise okwogera obutonotono n'abamu okumuweereza obubaka nga bwe babuuza ogubadde ate abalala nti ate Hajji akukoze ki?

Waayise ennaku ntono Kim Swagga eyeeyita mwannyina wa Vivian naye n'avaayo ng'ayita ku mukutu gwe ogwa Facebook n'ateekako obubaka obugamba nti " nasalawo okusirika olw'empisa ze ne bwe yayagala okuntuusako obulabe naye Katonda alimusasula.

Nsonyiwa mwannyinaze okwanjula eri omusajja oyo era nja kusigala nga nnenyezebwa olwa buli kimu." Obubaka bwa Kim Swagga bwayongedde okutiisa abantu bakira abamu beebuuza ekigenda mu maaso wakati w'abantu bano.

Wabula ate abamu baasobeddwa n'okutabulwa olw'obubaka bwa Jalia obulala bwe yataddeko ate ng'awaana Mbuga n'atuuka n'okumwogerako ng'omuntu gw'ayagala ennyo amukkakkanya obulumi buli lw'abeera abuwulira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kangave ne Deborah nga bamema

Eyali omwogezi wa Poliisi a...

Eyali omwogezi wa poliisi mu bitundu okuli e Luweero ne Masaka, Paul Kangave ayanjuddwa mu bazadde ba mukyalawe...

Katikkiro Charles Peter Mayiga n'omuyimbi Carol Nantongo

Carol Nantongo afe essanyu ...

OMUYIMBI Carlo Nantongo kate afe essanyu Katikkiro Charles Peter Mayiga bwe yamuwaanye nti ayimba ‘ebiriyo'. ...

Nina Roz ne Daddy Andre nga bamema

Nina Roz asekeredde abamuye...

" NG'ENZE ne Andre abalala bali ku byabwe. Okukyala kuwedde kati mulinde kwanjula na mbaga," bwatyo omuyimbi Nina...

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...