TOP
  • Home
  • Kasalabecca
  • Eyali muninkini wa Bennie Gunter awakanya ebyavudde mu musaayi: 'Omwana wuwo'

Eyali muninkini wa Bennie Gunter awakanya ebyavudde mu musaayi: 'Omwana wuwo'

Added 20th July 2020

“Ebyavudde mu musaayi sibikkiriza, kye mmanyi era kye nkakasa omwana wa Beenie Gunter,” bw’atyo Phiona Akankwasa bwe yatandise ng’awakanya ebyavudde mu kukebera omusaayi wakati wa Beenie Gunter n’omwana Akankwasa gw’amulumirizza okumuzaalamu.

Bennie Gunter ne Phiona Akankwasa eyali muninkini we

Bennie Gunter ne Phiona Akankwasa eyali muninkini we


Bino biddiridde Akankwasa okuvaayo omwezi oguwedde n'alumiriza Crescent Baguma, amanyiddwa nga Beenie Gunter okumuzaalamu omwana n'agaana okumulabirira.

Abantu ab'enjawulo baavaayo ne bamuteekako akazito alabirire omwana oba bagende ku musaayi bakebere endagabutonde (DNA).

Beenie Gunter yakkiriza okumukebera ne bagenda ku ddwaaliro lya MBN. Wabula, okusinziira ku byavudde mu DNA eyakoleddwa wakati wa bbebi, Jeremiah ne Beenie Gunter, byalaze nti omwana si wuwe.

Wano Beenie Gunter yassizza ku kikkoowe bakira ayogeza ssanyu ng'agamba nti ne kino kiwedde bamuleke akole ebibye. Yayongeddeko nti tagenda kunenya Akankwasa wadde okumuvunaana mu mateeka kubanga wabaddewo ababadde bamukozesa nga bagezaako okumusiiga enziro n'okwonoona erinnya lye.

AKANKWASA ATADDE AKAKA

Akankwasa bwe yatuukiriddwa ku ssimu yagambye nti teyamatidde na ngeri DNA gye yakoleddwaamu kubanga n'empapula eziraga ebyavudde mu musaayi tebaamuwaddeko kkopi.

"Baatuyise okutubuulira ebyavudde mu musaayi era bwe twatuuse ne babitusomera kyokka bwe nasabye nange bampeeko kkopi baagaanyi ne banjuliza Beenie Gunter nti y'alina okugimpa kyokka naye yagaanyi."Bw'aba nga bw'atyo bw'asazeewo amwegaane olw'okuba ssereebu, nze mmuswaza kammuleke nneekulize omwana wange kasita Katonda ekituufu akimanyi.

Mu maaso eyo bw'alituuka ne yeekuba mu kifuba ng'ayagala omwana we alinnoonya," bwe yayongeddeko.

Kyokka bino Beenie Gunter yabiyise kwekwata ku bisubi kubanga eddwaaliro gye baabakeberedde abaffamire ya Akankwasa be baalironda ye n'asasula ssente z'okubakebeza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiro Mayiga awabudde A...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga awabudde Abasumba b'Abalokole okukomya okwerumaaluma. Yabadde agenze...

Ssennyonga musajja wa buggy...

Endiga z'omugenzi Augustine Yiga katono ziffe essanyu bwe zirabye ku musajja wa Katonda Bro. Ronnie Makabai owa...

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...