TOP

Ssente obuwumbi 37 zitabudde abayimbi

Added 22nd July 2020

SSENTE obuwumbi 37 abayimbi ze baagala okweggya mu bwavu obwabaleeterwa Corona nga babaggaddewo zibatabudde ne beerangira n’abamu ne balaga nga bwe batiisibwatiisibwa okukolebwako obulabe.

San yo (ow’okubiri ku kkono) ne banne bwe baabadde mu lukiiko.

San yo (ow’okubiri ku kkono) ne banne bwe baabadde mu lukiiko.






Engabanya, enteekateeka yaazo, ani alina okuzifuna, ani azigobako, ziri mmeka n'abatalina kufuna n'ebirala bye bisinze okutabula abayimbi bano. Raga Dee agamba ye yaleeta ekiteeso kya ssente z'ayita ‘Stimulus package' okuyambako abayimbi, bapulomoota, ab'amabaala n'abalala abali mu kisaawe ky'amasanyu n'okuyimba abakoseddwa olw'omuggalo gwa ssennyiga omukambwe.

Ng'agoba ku ssente ezo, Ragga Dee ne bayimbi banne ku Lwokutano basisinkanye Gen. Salim Saleh e Kapeeka okuttaanya pulaani yonna. Kyokka amawulire ga bano okusisinkana olwagudde mu matu g'abayimbi abalala abataabaddeyo nga bakulembeddwaamu San Yo baatandise okuwakanya enteekateeka za Ragga Dee n'okuzikubamu ebituli nga bagamba nti, apanga kubalyako ssente.

San Yo kino tekyamumalidde, ku Lwomukaaga yatuuzizza olukiiko lw'abayimbi abato (upcoming) mwe baalagidde obutali bumativu n'enteekateeka za Ragga Dee ne banne. "Ng'oggyeeko okuyimba, nze ddereeva wa Buchaman (Mark Bugembe) era ku Lwokutaano nze namututte e Kapeeka kyokka okusinziira ku byavudde mu lukiiko, kiraga nti waliwo abamu ku bayimbi ne bapulomoota abaagala okulya ssente mu mannya gaffe.

Yagasseeko nti bano baatandika dda okugoba ku ssente nga bakozesa amannya gaabwe ate nga tebababuulidde era awo oluyombo we lwatandikidde.

TONNY SSEMPIJJA ASATTIRA

Abamu ku bagaala okufuna ssente mwe muli ne bapulomoota. Tonny Ssempijja agamba nti ne ku luno yazudde abamu ku bapulomoota abaalaze ssente ezisinga ku ze baali batadde mu bivvulu okufaananako n'ekyakolebwa ku bivvulu bya Bobi Wine ebyasazibwamu abantu ne bayoola ssente ezisinga entuufu ze baali bafiiriddwa.

Kyokka ono mweraliikirivu nti abayimbi baamwetisse dda nti y'alemesezza ssente ezo kubanga waliwo abaagenze mu lukiiko olwo nga basuubirayo ssente ez'amangu kyokka Gen. Saleh bwe yabasabye basooke beetereeze abamu kwe kulowooza nti Ssempijja ye yamubuusizza ng'enjogera y'ennaku zino.

Ono agamba nti, yagudde ne mu lukwe olwabadde lupangiddwa abamu ku bano okwagala okumusibisa nga bamutaddeko ebisango era nti baasooka kumutabula na Gen. Elly Kayanja eyali mu nteekateeka za bapulomoota abaafuna ssente omwaka oguwedde.

Wano kwe kutegeeza nga bw'avudde mu bintu by'abayimbi nga tebannamutuusaako bulabe ate nga ne ssente baazisaba takimanyiiko era ku Calendar e Makindye awali offiisi w'abadde atuula yavuddeyo.

GAVUMENTI EYAGALA KUTEREEZA NSIKE YA BANNABITONE

Ng'ayogera ku lukiiko olwabadde e Kapeeka, Emma Carlos Mulondo omwogezi w'ekibiina ekigatta bannabitone mu ggwanga ekya ‘National Cultural forum' yasoose kusambajja byogerwa nti eno abaagenze babadde bagaala ssente. Agamba nti, olukiiko olwayitiddwa Gen. Saleh lwagendereddwaamu kutereeza nsiike ya bannabitone n'okulaba engeri abo abalina ebizibu gye bayiza okuyambibwamu.

"Kitufu e Kapeeka waabaddeyo olukiiko lu Lwokutaano olwetabiddwaamu abantu ab'enjawulo abakwatibwako ensike y'ebyamasanyu omwabadde abakungu mu minisitule y'ekikula ky'abantu etutwala, aba UCC, URA, abayimbi, bapulomoota n'abalala era olukiiko luno y'emu ku nteekateeka ekolebwa okulaba nga tufuna ssente ze twasaba Gavumenti okutuyambako naddala abakoseddwa Corona.

Yagambye nti Gen. Saleh akooye obukuukuulu bw'abayimbi ne bapulomoota abavaayo buli kiseera nga buli omu asaba ssente, ayagala nteekateeka yawamu egenda okuganyulwa buli omu ali mu nsiike eno.

Mu balala abaabaddeyo kuliko; Catherine Kusasira ne Full Figure abawabuzi Pulezidenti ku nsonga za Kampala, Jose Chameleone ng'eyafiirwa ekivvulu mu corona, Ragga Dee, Big Eye aludde ng'abanja, Moses Lubulwa (Chopa chopa) eyali ategese ekivvulu kya Kenzo e Kololo n'abalala.

Ragga Dee yasabye abayimbi okugumiikiriza balinde ekinaava mu nteekateeka eno.

SSENTE obuwumbi 37 abayimbi
ze baagala okweggya mu bwavu
obwabaleeterwa Corona nga babaggaddewo
zibatabudde ne beerangira
n'abamu ne balaga nga bwe
batiisibwatiisibwa okukolebwako
obulabe.
Engabanya, enteekateeka yaazo,
ani alina okuzifuna, ani azigobako,
ziri mmeka n'abatalina kufuna
n'ebirala bye bisinze okutabula
abayimbi bano.
Raga Dee agamba ye yaleeta
ekiteeso kya ssente z'ayita ‘Stimulus
package' okuyambako abayimbi,
bapulomoota, ab'amabaala n'abalala
abali mu kisaawe ky'amasanyu
n'okuyimba abakoseddwa
olw'omuggalo gwa ssennyiga omukambwe.
Ng'agoba ku ssente ezo, Ragga
Dee ne bayimbi banne ku Lwokutano
basisinkanye Gen. Salim Saleh
e Kapeeka okuttaanya pulaani
yonna.
Kyokka amawulire ga bano
okusisinkana olwagudde mu matu
g'abayimbi abalala abataabaddeyo
nga bakulembeddwaamu San Yo
baatandise okuwakanya enteekateeka
za Ragga Dee n'okuzikubamu
ebituli nga bagamba nti, apanga
kubalyako ssente.
San Yo kino tekyamumalidde, ku
Lwomukaaga yatuuzizza olukiiko
lw'abayimbi abato (upcoming)
mwe baalagidde obutali bumativu
n'enteekateeka za Ragga Dee ne
banne.
"Ng'oggyeeko okuyimba, nze
ddereeva wa Buchaman (Mark
Bugembe) era ku Lwokutaano
nze namututte e Kapeeka kyokka
okusinziira ku byavudde mu lukiiko,
kiraga nti waliwo abamu ku bayimbi
ne bapulomoota abaagala okulya
ssente mu mannya gaffe.
Yagasseeko nti bano baatandika
dda okugoba ku ssente nga bakozesa
amannya gaabwe ate nga
tebababuulidde era awo oluyombo
we lwatandikidde.
TONNY SSEMPIJJA ASATTIRA
Abamu ku bagaala okufuna
ssente mwe muli ne bapulomoota.
Tonny Ssempijja agamba nti ne ku
luno yazudde abamu ku bapulomoota
abaalaze ssente ezisinga ku
ze baali batadde mu bivvulu okufaananako
n'ekyakolebwa ku bivvulu
bya Bobi Wine ebyasazibwamu
abantu ne bayoola ssente ezisinga
entuufu ze baali bafiiriddwa.
Kyokka ono mweraliikirivu nti
abayimbi baamwetisse dda nti
y'alemesezza ssente ezo kubanga
waliwo abaagenze mu lukiiko olwo
nga basuubirayo ssente ez'amangu
kyokka Gen. Saleh bwe yabasabye
basooke beetereeze
abamu kwe
kulowooza nti
Ssempijja ye
yamubuusizza
ng'enjogera
y'ennaku zino.
Ono agamba
nti, yagudde
ne mu lukwe
olwabadde
lupangiddwa abamu ku bano okwagala
okumusibisa nga bamutaddeko
ebisango era nti baasooka
kumutabula na Gen. Elly Kayanja
eyali mu nteekateeka za bapulomoota
abaafuna ssente omwaka
oguwedde.
Wano kwe kutegeeza nga
bw'avudde mu bintu by'abayimbi
nga tebannamutuusaako bulabe ate
nga ne ssente baazisaba takimanyiiko
era ku Calendar e Makindye
awali offiisi w'abadde atuula yavuddeyo.
GAVUMENTI EYAGALA KUTEREEZA
NSIKE YA BANNABITONE.
Ng'ayogera ku lukiiko olwabadde
e Kapeeka, Emma Carlos Mulondo
omwogezi w'ekibiina ekigatta bannabitone
mu ggwanga ekya
‘National Cultural forum' yasoose
kusambajja byogerwa nti eno abaagenze
babadde bagaala ssente.
Agamba nti, olukiiko olwayitiddwa
Gen. Saleh lwagendereddwaamu
kutereeza nsiike ya
bannabitone n'okulaba engeri abo
abalina ebizibu gye bayiza okuyambibwamu.
"Kitufu e Kapeeka waabaddeyo
olukiiko lu Lwokutaano olwetabiddwaamu
abantu ab'enjawulo abakwatibwako
ensike y'ebyamasanyu
omwabadde abakungu mu minisitule
y'ekikula ky'abantu etutwala,
aba UCC, URA, abayimbi, bapulomoota
n'abalala era olukiiko luno
y'emu ku nteekateeka ekolebwa
okulaba nga tufuna ssente ze
twasaba Gavumenti okutuyambako
naddala abakoseddwa
Corona.
Yagambye
nti Gen.
Saleh akooye
obukuukuulu
bw'abayimbi
ne
bapulomoota
abavaayo buli
kiseera nga buli
omu asaba ssente,
ayagala nteekateeka
yawamu egenda
okuganyulwa buli
omu ali mu nsiike
eno.
Mu balala
abaabaddeyo kuliko; Catherine
Kusasira ne Full Figure abawabuzi
Pulezidenti ku nsonga za Kampala,
Jose Chameleone ng'eyafiirwa ekivvulu
mu corona, Ragga Dee, Big Eye
aludde ng'abanja, Moses Lubulwa
(Chopa chopa) eyali ategese ekivvulu
kya Kenzo e Kololo n'abalala.
Ragga Dee yasabye abayimbi
okugumiikiriza balinde ekinaava mu
nteekateeka eno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dr. Mwebesa

Omuntu owa 5 afudde Corona

UGANDA efiiriddwa omuntu owookutaano, ekyongedde okweraliikiriza nti obulwadde bwa Corona bukyali bwa maanyi mu...

Olukiiko lwa NRM e Bukasa L...

WABADDEWO okusika omuguwa ku Ofiisi za NRM e Bukasa-Masozi mu Ggombolola y'e Bweyogerere mu Munisipaali y'e Kira...

Aba Takisi mu ppaaka y'oku ...

WABALUSEWO obutakanya mu ba takisi mu  ppaaka y'oku kaleerwe ekiwayi ekimu bwe kirumirizza nanyini ttaka kwe bakolera...

Nalweyiso ng'atottola obulamu bw'ekkomera

Gwe baakwatira mu Curfew ne...

OMUYIMBI  eyakwatibwa olw'okugyemeera ebiragiro bya pulezidenti oluvudde mu kkomera e Kigo nayiiya oluyimba lw'atumye...

Abaabadde batendekebwa okuyamba abakoseddwa mu mataba.

Ab'e Kasese abaakosebwa ama...

ABANTU b'e Kasese abaakosebwa amataba olw'omugga Nyamwamba okwabika bakyalaajanira gavumenti okubayamba waakiri...