TOP
  • Home
  • Kasalabecca
  • Aba Ebonies bagaanyi Corona okubasembya: Bakoze omukutu gwabwe ogwa Ebuwood

Aba Ebonies bagaanyi Corona okubasembya: Bakoze omukutu gwabwe ogwa Ebuwood

Added 4th August 2020





Dr. Bbosa (mu katono) ng'amannya ge amatuufu ye Sam Bagenda yasinzidde ku mukolo gw'okutongoza enkola empya mwe bagenda okuyita okutuusa ‘waaka' waabwe omupya n'omukadde (emizannyo n'ebirala) ku bawagizi n'ategeeza nga bwe bakoseddwa ennyo ekirwadde kya Covid-19 wabula tebasobola kusigala nga batudde n'okwekubagiza.

Yagambye nti balina abavubuka bangi be bakozesa kwe kusalawo mu kiseera kino, ebipya bye bazannya n'emizannyo gyabwe emikadde babiteeke ku mukutu gwabwe ogwa Ebowood kwe baba babirabira.

Bano be bakuzannyira OMG ku Bukedde ttivvi. Baabadde mu maka gaabwe aga Ebowood e Lubaga ku Lwomukaaga kyokka wabadde oyinza okulowooza baabadde mu mpaka za kwolesa misono olw'obuwero abamu ku bazannyi mu kibiina okwabadde Evelyn Namulondo, Agie Swagga n'abalala bwe beesaze.

Batandise na kulambuza bannamawulire ekifo kino ekirimu buli kimu we bazannyira emizannyo n'okukwata fi rimu. Bakira ababalaba ku mukutu bali mu kukungiriza ebyana okunyirira.

ENSWA bwekyusa amaaso naawe
ng'okyusa envubo! Bwe batyo bannakatemba
ba The Ebonies balabye embeera
ya Corona ekyalemeddeko ekibaleetedde
okusigala mu muggalo nga tebakyakola
kuba tebasobola kukung'aanya bantu
ku Theater Labonita n'ebifo ebirala
ebisanyukirwamu, basaazeewo amaanyi
kati kugazza ku mikutu gya yintanenti
okulaba nga batuusa ku bawagizi baabwe
bye bakola n'ebibakwatako. Dr. Bbosa
(mu katono) ng'amannya ge amatuufu
ye Sam Bagenda yasinzidde ku mukolo
gw'okutongoza enkola empya
mwe bagenda okuyita okutuusa ‘waaka'
waabwe omupya n'omukadde (emizannyo
n'ebirala) ku bawagizi n'ategeeza nga
bwe bakoseddwa ennyo ekirwadde kya
Covid-19 wabula tebasobola kusigala nga
batudde n'okwekubagiza. Yagambye nti
balina abavubuka bangi be bakozesa kwe
kusalawo mu kiseera kino, ebipya bye
bazannya n'emizannyo gyabwe emikadde
babiteeke ku mukutu gwabwe ogwa
Ebowood kwe baba babirabira. Bano be
bakuzannyira OMG ku Bukedde ttivvi.
Baabadde mu maka gaabwe aga Ebowood
e Lubaga ku Lwomukaaga kyokka
wabadde oyinza okulowooza baabadde mu
mpaka za kwolesa misono olw'obuwero
abamu ku bazannyi mu kibiina
okwabadde Evelyn Namulondo,
Agie Swagga n'abalala bwe
beesaze. Batandise na kulambuza
bannamawulire ekifo kino
ekirimu buli kimu we bazannyira
emizannyo n'okukwata fi rimu.
Bakira ababalaba ku mukutu bali mu
kukungiriza ebyana okunyirira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...