
Mwabaddemu n'abagumu abaagambye nti engeri gyeri Idd mulinde ebifaananyi by'aneekubya ne Dokita, bye baayise ‘Idd photo shoot' kuba tatera kubisubwa.
Wayise olunaku lumu Rema Namakula n'ayiwa ebifaananyi ku mukutu gwe ogwa Facebook ng'ali ne bba Hamza Ssebunya ebyabakubiddwa nga bali mu mbeera eya laavu, beekutte bwe bemoola ng'abaagala okwenywegera.
Wabula abasinga amaaso bagatadde ku ndabika ya Rema gwe baludde okulaba. Bakira abamu bamuweereza obubaka obwebaza Hamza emirimu nga bwe bagamba nti ‘Egya kalantiini tugiraba'.
Ebifaananyi bino bimulaga ng'ataddeko omubiri n'akanyiriro ekyaleetedde abawagizi be okwebuuza oba kanyiriro aka bulijjo kubanga bangi bafunye omubiri mu kiseera kya Covid oba Dokita yamukozeemu omulimu.
Rema yayanjula Dr. Hamza Ssebunya mu November w'omwaka oguwedde ku mukolo ogw'ebbeeyi ogwali e Nabbigo era abawagizi bamaze ebbanga nga basaba Rema waakiri abaweeyo bebbi w'omukolo guno nga bwe balindirira embaga.