TOP

Desire Luzinda tatudde!

Added 11th August 2020

OMUYIMBI Desire Luzinda abamu gwe baakazaako erya ‘Kitone’ naye nno tatuula. Bwe yabadde agogera ku bulamu bwe obupya n’olugendo lwe olw’okusoma lw’aliko yagambye nti “Ekkalaamu terimba ate okusoma tekukoma.”

Luzinda

Luzinda




Desire mu kiseera kino ali mu Amerika, abawagizi be bamaze ebbanga nga beebuuza ky'aliko wabula bano ku wiikendi yabeewuunyisizza bwe yategeezezza nti yaddayo okusoma era asoma busawo.

Mu kwagala okubakakasa nti ddala asoma yabagatiddeko n'ebifaananyi bye yatadde ku mukutu gwe ogwa facebook ng'ayambadde ekyambalo ky'abasawo ng'akutte ebitabo n'ekyuma ekikozesebwa mu kukebera abalwadde embeera gye balimu.

Desire agamba nti ekirooto kye kya kulaba nga ku luno amaliriza emisono gye kubanga emirundi mingi gy'agezezzaako okusoma yunivasite ng'emisono agikomya mu kkubo.

Omanyi nnannyini kitone agamba nti yeegatta ku Makerere yunivasite okusoma ddiguli mu byenfuna ebyokwekulaakulanya eya ‘Development Economics' kyokka olw'okuba yali yaakatandika okuyimba, yakoma mu mwaka gwakubiri n'asalawo asooke akulaakulanye ekitone kye eky'okuyimba.

Yali ne ku yunivasite y'e Nkozi okusoma ddiguli mu ‘Development Studies' wabula yafuna olugendo e Bungereza olwamulemesa okukola ebibuuzo by'om-waka ogusooka era wano we yakoma.

Wano Desire we yasinzidde okugamba nti kati asinzidde. Wabula engeri Desire gye yaakaweza emyaka ebiri mu Amerika abaalabye ku bifaananyi bye ng'ayambadde ebyobusawo ng'atadde ne ‘Stethoscopes' ekebera omulwadde embeera gy'alimu bafunyemu okwekengera nti oba ayanguye okubyetimba nga tannamaliriza kkoosi, ekituufu nze naawe.

Abalala nti asoma bwannansi okulabirira abakadde mu Amerika.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

UNEB ewadde abayizi wiiki 5...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ewadde abazadde n’abayizi omwezi gumu okusasula ssente z’ebigezo n’okwewandiisa okukola...

Trump ne Biden

Omugagga asasulidde abasibe...

OMUSAJJA bifeekeera, omu ku basinga obugagga mu Amerika akutte doola obukadde 16 n’asasulira abasibe 32,000 engassi...

Abawagizi ba Rukutana nga bajaganya

Engeri ebya Rukutana gye bi...

EBY’OBULULU bw’e Rushenyi bikyuse minisita Mwesigwa Rukutana bw’alangiddwa ng’eyawangudde akalulu k’essaza lino...

Omuyimbi Pia Pounds yeekokk...

Sheilah Gashumba kirabika kati ye yeekwatiramu mu kukuba ebifaananyi

Malokwezza ne mukazi nga bajaganya

Tofiri Malokweza (92): Ayog...

Bw’OLABA omuntu ow’emyaka 92 tolemwa kutendereza Katonda ate ng’eno bwe weebuuza ekyama kye ekimusobozesezza okuwangaala....