TOP

Buchaman ne Sempijja beekiise mu ssente za bapulomoota

Added 27th August 2020

ENTEEKATEEKA za gavumenti okuliyirira bapulomoota n’abayimbi abaali batadde ssente mu bivvulu bya ppasika ne bisaazibwamu olwa corona zandijjamu omukoosi oluvannyuma lwa Buchaman ne Ssempijja okuddukira ku poliisi ne bawakanya enteekateeka eno.

Buchaman(akutte omuggo), Ssempijja (owookubiri ku kkono) n’abalala e Ngguru.

Buchaman(akutte omuggo), Ssempijja (owookubiri ku kkono) n’abalala e Ngguru.




Bano we baviiriddeyo ng'abayimbi ne bapulomoota abaali bategese ebivvulu wakati wa March ne July ne bisaazibwamu beesunga kufuna ssente oluvannyuma lwa gavumenti okuteekawo obuwumbi 6 ez'okubaliyirira.

Ssempijja omukwanaganya w'ekibiina kya UMP-NET omuli abayimbi, abategesi b'ebivvulu ne bannakatemba n'abalala ng'ali wamu ne Buchaman omuwabuzi wa pulezidenti ku nsonga z'omu Ghetto, ku Lwokutaano baasisinkanye AIGP Edward Ochom akulira ebikwekweto mu ggwanga, gwe beemulugunyirizza ku bamu ku bantu abateekateeka okufuna ssente nti tebalina bivvulu bye baali bataddemu ssente ate abalala ssente ze baagala okubaliyirira nnyingi kw'ezo ze baali bataddemu.

Mu nsisinkano eyabadde ku kitebe kya poliisi e Naggulu, bano baasabye afande Ochom alagire abaduumizi ba poliisi mu disitulikiti ez'enjawulo omugambibwa okuba nti mwe mwali mutegekeddwa ebivvulu okufulumya enkalala z'abo abaali basabye olukusa lwa poliisi n'ebimu ku bisaanyizo omuntu ategeka ekivvulu byalina okutuukiriza.

"Gano malya nsimbi agajjuddemu abafere abaagaala okulya ssente za gavumenti, tetugenda kukkiriza. Kivvulu ki wano mu Uganda omuntu kyasobola okutegekera akawumbi ka ssente ng'abamu bwe balaga? Abamu baali bataddemu obukadde 10 kati baagala 100. Ffe tuli beetegefu okusisinkana Pulezidenti Museveni tumutegeeze ekituufu mu nsonga zino" bwebatyo obwedda bwe bawera.

BASABYE POLIISI OKWEKALAKAASA

Ssempijja ng'ayita mu kibiina kya UMP-NET era yawandiikidde poliisi ng'agisaba olukusa emukirize ne banne okwekalakaasa mu mirembe nga batambula okuva e Kibuye okutuuka mu maka ga pulezidenti e Ntebe batwaleyo okwemulugunya ku nsonga y'emu era bano baagala embalirira ya ssente akawumbi kamu n'obukadde 800 ezaasooka okuweebwa bapulomoota abagamba nti baafiirizibwa olw'ebivvulu bya Kyalenga bye baali bategese gye buvuddeko.

ABAPULOMOTA BABASEKEREDDE

Robert Jackson Nkuke (Mutima) omu ku bateekateeka okufuna ssente zino agamba nti yali ategese ekivvulu e Masaka, Arua ne mu bitundu ebirala yasekeredde Ssempijja ne Buchaman obwedda b'ayita ab'emitima emibi abataagaliza era nti bafunye ensaalwa okulaba nga bagenda kufuna ssente.

Ono agamba bano ne bwe bannaakola batya tebakyayinza kubalemesa kufuna ssente kubanga buli muntu yawaayo dda empapula ze baamusaba okukakasa era bawadde amagezi okubawagira mu kifo ky'okubalemesa.

ENTEEKATEEKA za gavumenti
okuliyirira bapulomoota
n'abayimbi abaali batadde ssente
mu bivvulu bya ppasika ne bisaazibwamu
olwa corona zandijjamu
omukoosi oluvannyuma lwa
Buchaman ne Ssempijja okuddukira
ku poliisi ne bawakanya
enteekateeka eno.
Bano we baviiriddeyo
ng'abayimbi ne bapulomoota
abaali bategese ebivvulu wakati
wa March ne July ne bisaazibwamu
beesunga kufuna
ssente oluvannyuma lwa gavumenti
okuteekawo obuwumbi 6
ez'okubaliyirira.
Ssempijja omukwanaganya
w'ekibiina kya UMP-NET omuli
abayimbi, abategesi b'ebivvulu
ne bannakatemba n'abalala ng'ali
wamu ne Buchaman omuwabuzi
wa pulezidenti ku nsonga z'omu
Ghetto, ku Lwokutaano baasisinkanye
AIGP Edward Ochom akulira
ebikwekweto mu ggwanga, gwe
beemulugunyirizza ku bamu ku
bantu abateekateeka okufuna
ssente nti tebalina bivvulu bye
baali bataddemu ssente ate abalala
ssente ze baagala okubaliyirira
nnyingi kw'ezo ze baali bataddemu.
Mu nsisinkano eyabadde ku
kitebe kya poliisi e Naggulu, bano
baasabye afande Ochom alagire
abaduumizi ba poliisi mu disitulikiti
ez'enjawulo omugambibwa
okuba nti mwe mwali mutegekeddwa
ebivvulu okufulumya enkalala
z'abo abaali basabye olukusa
lwa poliisi n'ebimu ku bisaanyizo
omuntu ategeka ekivvulu byalina
okutuukiriza.
"Gano malya nsimbi agajjuddemu
abafere abaagaala okulya
ssente za
gavumenti,
tetugenda
kukkiriza.
Kivvulu
ki wano mu
Uganda
omuntu kyasobola
okutegekera
akawumbi
ka ssente
ng'abamu bwe
balaga? Abamu baali bataddemu
obukadde 10 kati baagala 100.
Ffe tuli beetegefu okusisinkana
Pulezidenti Museveni tumutegeeze
ekituufu mu nsonga zino"
bwebatyo obwedda bwe bawera.
BASABYE POLIISI OKWEKALAKAASA
Ssempijja ng'ayita mu kibiina
kya UMP-NET era yawandiikidde
poliisi ng'agisaba olukusa emukirize
ne banne okwekalakaasa mu
mirembe nga batambula okuva
e Kibuye okutuuka mu maka ga
pulezidenti e Ntebe batwaleyo
okwemulugunya ku nsonga
y'emu era bano baagala embalirira
ya ssente akawumbi kamu
n'obukadde 800 ezaasooka okuweebwa
bapulomoota abagamba
nti baafiirizibwa olw'ebivvulu bya
Kyalenga bye baali bategese gye
buvuddeko.
ABAPULOMOTA BABASEKEREDDE
Robert Jackson Nkuke (Mutima)
omu ku bateekateeka
okufuna ssente zino agamba
nti yali ategese ekivvulu e
Masaka, Arua ne mu bitundu
ebirala yasekeredde Ssempijja
ne Buchaman obwedda b'ayita
ab'emitima emibi abataagaliza era
nti bafunye ensaalwa okulaba nga
bagenda kufuna ssente.
Ono agamba bano ne bwe bannaakola
batya tebakyayinza kubalemesa
kufuna ssente kubanga
buli muntu yawaayo dda empapula
ze baamusaba okukakasa era
bawadde amagezi okubawagira
mu kifo ky'okubalemesa.
ENTEEKATEEKA za gavumenti okuliyirira bapulomoota n'abayimbi abaali batadde ssente mu bivvulu bya ppasika ne bisaazibwamu olwa corona zandijjamu omukoosi oluvannyuma lwa Buchaman ne Ssempijja okuddukira ku poliisi ne bawakanya enteekateeka eno. Bano we baviiriddeyo ng'abayimbi ne bapulomoota abaali bategese ebivvulu wakati wa March ne July ne bisaazibwamu beesunga kufuna ssente oluvannyuma lwa gavumenti okuteekawo obuwumbi 6 ez'okubaliyirira. Ssempijja omukwanaganya w'ekibiina kya UMP-NET omuli abayimbi, abategesi b'ebivvulu ne bannakatemba n'abalala ng'ali wamu ne Buchaman omuwabuzi wa pulezidenti ku nsonga z'omu Ghetto, ku Lwokutaano baasisinkanye AIGP Edward Ochom akulira ebikwekweto mu ggwanga, gwe beemulugunyirizza ku bamu ku bantu abateekateeka okufuna ssente nti tebalina bivvulu bye baali bataddemu ssente ate abalala ssente ze baagala okubaliyirira nnyingi kw'ezo ze baali bataddemu. Mu nsisinkano eyabadde ku kitebe kya poliisi e Naggulu, bano baasabye afande Ochom alagire abaduumizi ba poliisi mu disitulikiti ez'enjawulo omugambibwa okuba nti mwe mwali mutegekeddwa ebivvulu okufulumya enkalala z'abo abaali basabye olukusa lwa poliisi n'ebimu ku bisaanyizo omuntu ategeka ekivvulu byalina okutuukiriza. "Gano malya nsimbi agajjuddemu abafere abaagaala okulya ssente za gavumenti, tetugenda kukkiriza. Kivvulu ki wano mu Uganda omuntu kyasobola okutegekera akawumbi ka ssente ng'abamu bwe balaga? Abamu baali bataddemu obukadde 10 kati baagala 100. Ffe tuli beetegefu okusisinkana Pulezidenti Museveni tumutegeeze ekituufu mu nsonga zino" bwebatyo obwedda bwe bawera. BASABYE POLIISI OKWEKALAKAASA Ssempijja ng'ayita mu kibiina kya UMP-NET era yawandiikidde poliisi ng'agisaba olukusa emukirize ne banne okwekalakaasa mu mirembe nga batambula okuva e Kibuye okutuuka mu maka ga pulezidenti e Ntebe batwaleyo okwemulugunya ku nsonga y'emu era bano baagala embalirira ya ssente akawumbi kamu n'obukadde 800 ezaasooka okuweebwa bapulomoota abagamba nti baafiirizibwa olw'ebivvulu bya Kyalenga bye baali bategese gye buvuddeko. ABAPULOMOTA BABASEKEREDDE Robert Jackson Nkuke (Mutima) omu ku bateekateeka okufuna ssente zino agamba nti yali ategese ekivvulu e Masaka, Arua ne mu bitundu ebirala yasekeredde Ssempijja ne Buchaman obwedda b'ayita ab'emitima emibi abataagaliza era nti bafunye ensaalwa okulaba nga bagenda kufuna ssente. Ono agamba bano ne bwe bannaakola batya tebakyayinza kubalemesa kufuna ssente kubanga buli muntu yawaayo dda empapula ze baamusaba okukakasa era bawadde amagezi okubawagira mu kifo ky'okubalemesa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kaweefube okutaasa ekibira ...

AMAWULIIRE  | EKIBIRA KY'EBUGOMA  

Ssebaggala omu ku battiddwa

Abasudan ab'emmundu bawamby...

AKABINJA ka bannansi ba South Sudan ababagalidde emmundu bawambye Bannayuganda abavuga loole ezitwalayo amatooke,...

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...