TOP
  • Home
  • Kasalabecca
  • Famire ya Bebe ne Bobi bakoze obubadi nga bajaguza amazaalibwa

Famire ya Bebe ne Bobi bakoze obubadi nga bajaguza amazaalibwa

Added 9th September 2020





Okwawukanako n'obubaga bulijjo bwe batera okukola mu bifo ebisanyukirwamu olumu ne ku mazzi kwe basembereza abooluganda, emikwano n'abawagizi baabwe abamu ne batuuka n'okubiteekamu okuvuganya nga beebuuza asinze okuteekamu omusimbi n'esswagga, ku mulundi guno obubadi babuzzizza mu nnyambala.

Bwe yabadde ajaguza okuweza emyaka 42 wiiki ewedde, ng'ebimu ku bikujjuko, Bebe Cool (Moses Ssali) yakutte famire ye (Zuena n'abaana nga ne mutabani we omukulu Allan Hendrick talutumiddwa mwana ne beekubya ekifaananyi eky'awamu nga bambadde emijoozi gya kiraabu ya Arsenal ey'omu Bungereza, Bebe gy'awagira nga n'omu ku baana be Alpha Thierry Ssaali yamubbula mu eyali ssita wa Arsenal, Henry Thierry.

Abawagizi ba Bebe Cool babadde bakyawaana omuntu waabwe olw'akabadi kano ate ku Mmande, Barbie Kyagulanyi bwe yabadde ajaguza amazaalibwa ge, Bobi Wine naye yeekubisizza ekifaananyi ne famire ye nga bambadde engoye z'obuwanga omwabadde amakanzu, gomesi n'omushanana.

Ku mikutu gya sosolo midiya zino baazifudde mpaka z'ani asinze okwambala ku mazaalibwa era obwedda buli omu awaana wuwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kaweefube okutaasa ekibira ...

AMAWULIIRE  | EKIBIRA KY'EBUGOMA  

Ssebaggala omu ku battiddwa

Abasudan ab'emmundu bawamby...

AKABINJA ka bannansi ba South Sudan ababagalidde emmundu bawambye Bannayuganda abavuga loole ezitwalayo amatooke,...

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...