TOP

Fik Fameica akyepena ebya kkooti

Added 12th September 2020

OMUYIMBI Shafic Walukagga amanyiddwa nga Fik Famaica ne polodyusa Martin Musoke amanyidwa nga Artin Pro, kirabika batya okugasimbagana n’omulamuzi.

W'owulirira bino nga bakyali mu kwepena okukwata empapula za kkooti ku musango ogwabawawaabirwa ogw'okukuba oluyimba oluvvoola ekitiibwa ky'abakyala.

Ku Lwokusatu, ofi isa wa kkooti Josephat Byamugisa yagenze ku ofi isi za pulodyusa Artin Pro e Makindye mu Kizungu okumuwa empapula ezimuyita okweyanjula mu kkooti nga December 1, 2020 ku nsonga z'oluyimba lwa "My Woman my Property" abaamuwawaabira lwe bagamba nti luvvoola ekitiibwa ky'omukyala kyokka ono empapula yagaanye okuzikwata n'alagira ofi isa wa kkooti anoonye munnamateeka we gw'aba azikwasa.

Oluvannyuma ofi isa wa kkooti yakubidde Fik Famaica essimu ng'amubuuza w'aba amusanga okumuwa empapula.

Ono yamwanukudde nti ‘ye ebya kkooti tebimanyi empapula tajja kuzikwata bamwesonyiwe, Omanyi Muky. Praidisia Nagasha ow' e Mbarara ng'ayita mu bannamateeka be aba Newmark Advocates yadduukira mu kkooti n'awawaabira Fik Famaica, pulodyusa Artin n'ekitongole ekivunaanyizibwa ku bifulumira ku mpewo ekya UCC ku luyimba My Property.

Emanuel Tumwebaze munamateeka wa Nagasha agamba nti omuntu waabwe awakanya ekya Fik Famaica okussa ebbeeyi y'abakazi ng'abageza ku bintu ebitalimu makulu mu luyimba luno ng'abayita obugaati, chapati, yogati n'ebirala bye yateeka mu luyimba luno era ayagala kkooti eragire UCC okuluyimiriza okuzannyibwa ku mpewo.

Ayagala Artin Pro ne Fik Famaica beetondere abakyala n'abawala bonna mu ggwanga mu lwatu ku mikutu gy'amawulire ne "Social media" ate era Fik Famica amuliyirire ssente zonna zanaaba atadde mu musango guno.

Nagasha mu kuwaaba kwe era alaga nti aludde ng'agoberera ennyimba z'abayimbi nga waliwo n'ennyimba endala ez'omuyimbi Famaica ezitatuukana na mutindo nga olwa Kutama ne Byenyenyenya.

Munnamateeka wa pulodyusa Artin Pro ayitibwa Vesta Makaka owa Vemak Legal consultant yategeezezza owoolugambo waffe nti empapula tebannazifuna. Wano abalala we beewuunyirizza nti okwo si kwekangabiriza!

OMUYIMBI Shafi c Walukagga
amanyiddwa nga Fik Famaica
ne polodyusa Martin Musoke
amanyidwa nga Artin Pro, kirabika
batya okugasimbagana
n'omulamuzi. W'owulirira bino nga
bakyali mu kwepena okukwata
empapula za kkooti ku musango
ogwabawawaabirwa ogw'okukuba
oluyimba oluvvoola ekitiibwa
ky'abakyala. Ku Lwokusatu, ofi isa
wa kkooti Josephat Byamugisa
yagenze ku ofi isi za pulodyusa
Artin Pro e Makindye mu Kizungu
okumuwa empapula ezimuyita
okweyanjula mu kkooti nga
December 1, 2020 ku nsonga
z'oluyimba lwa "My Woman my
Property" abaamuwawaabira lwe
bagamba nti luvvoola ekitiibwa
ky'omukyala kyokka ono empapula
yagaanye okuzikwata n'alagira
ofi isa wa kkooti anoonye munnamateeka
we gw'aba azikwasa.
Oluvannyuma ofi isa wa kkooti
yakubidde Fik Famaica essimu
ng'amubuuza w'aba amusanga
okumuwa empapula. Ono yamwanukudde
nti ‘ye ebya kkooti tebimanyi
empapula tajja kuzikwata
bamwesonyiwe, Omanyi Muky.
Praidisia Nagasha ow' e Mbarara
ng'ayita mu bannamateeka be aba
Newmark Advocates yadduukira
mu kkooti n'awawaabira Fik Famaica,
pulodyusa Artin n'ekitongole
ekivunaanyizibwa ku bifulumira
ku mpewo ekya UCC ku luyimba
My Property. Emanuel Tumwebaze
munamateeka wa Nagasha agamba
nti omuntu waabwe awakanya
ekya Fik Famaica okussa ebbeeyi
y'abakazi ng'abageza ku bintu
ebitalimu makulu mu luyimba luno
ng'abayita obugaati, chapati, yogati
n'ebirala bye yateeka mu luyimba
luno era ayagala kkooti eragire
UCC okuluyimiriza okuzannyibwa
ku mpewo. Ayagala Artin Pro ne
Fik Famaica beetondere abakyala
n'abawala bonna mu ggwanga mu
lwatu ku mikutu gy'amawulire ne
"Social media" ate era Fik Famica
amuliyirire ssente zonna zanaaba
atadde mu musango guno. Nagasha
mu kuwaaba kwe era alaga
nti aludde ng'agoberera ennyimba
z'abayimbi nga waliwo n'ennyimba
endala ez'omuyimbi Famaica
ezitatuukana na mutindo nga olwa
Kutama ne Byenyenyenya. Munnamateeka
wa pulodyusa Artin Pro
ayitibwa Vesta Makaka owa Vemak
Legal consultant yategeezezza
owoolugambo waffe nti empapula
tebannazifuna. Wano abalala we
beewuunyirizza nti okwo si
kwekangabiriza!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kaweefube okutaasa ekibira ...

AMAWULIIRE  | EKIBIRA KY'EBUGOMA  

Ssebaggala omu ku battiddwa

Abasudan ab'emmundu bawamby...

AKABINJA ka bannansi ba South Sudan ababagalidde emmundu bawambye Bannayuganda abavuga loole ezitwalayo amatooke,...

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...