MU kaweefube w’okwongera okwagasiza Bannayuganda okwettanira ebyobulamuzi bya kuno nga Pulezidenti bwe yabakunze okwongera okwagala Uganda, ab’ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’obulambuzi ekya ‘Uganda Tourism Board’ (UTB) batongoza kampeyini etuumiddwa ‘Take on the Pearl of Africa’.
Claire Mugabi (ku kkono), kitunzi wa UTB agamba nti ekimu ku bigendererwa bya kampeyini eno kuggya mu bantu ndowooza gye balina nti eby'obulamuzi bya Bazungu na bantu abalina ssente ate nga n'omuntu waabulijjo asobola okulambula n'afuna okumanya n'okuwummuza ku birowoozo.
Mu nteekateeka eno era basazeewo okukola ne bassereebu ab'enjawulo okuli; Alex Muhangi (owookubiri ku kkono), Cleo Patra, Natasha Sinayobye (wakati)n'abalala okusikiriza abantu.