TOP
  • Home
  • Kasalabecca
  • Eyamezze abawanvu mu kamyufu ka NRM kati yeepikira ba 'opozisoni'

Eyamezze abawanvu mu kamyufu ka NRM kati yeepikira ba 'opozisoni'

Added 24th September 2020

OMUYIMBI Ziza Bafana akaaba lwa bizibu na mabanja ge yaguddemu oluvannyuma lw’okumukwata ng’ava okuyimba e Tanzania. Agamba yeewoze obukadde 8 okukola ku nsonga ze n’okwesasulira ebbanga lye yamaze mu kalantiini.




Okufaananako n'abayimbi abazze bayimba ku bizibu bye bayiseemu, Bafana naye ateekateeka okufulumya oluyimba olulombojja okunyigirizibwa n'embeera gye yayisiddwaamu ne banne abalala mukaaga bwe baakwatibwa.

Wadde Bafana agamba nti embeera ya corona eyaviirako ab'ebbaala n'abeebivvulu okuggalwa, ye yamuwalirizza okugenda e Tanzania okunoonyeza famire ye ekyokulya.

Kati yejjusa okugenda anti ng'oggyeeko okukwatibwa ne banne abalala mukaaga ne baggalirwa n'okusimbibwa mu kkooti olw'okumenya ebiragiro bya Pulezidenti, ekimu ku bimuluma y'engeri gye yakwatibwamu ne banne okuva mu wooteeri mwe baali basuze oluvannyuma lw'okuyimba.

Agamba abeebyokwerinda e Tanzania nga bakolagana n'ab'e Uganda baasalako wooteeri mwe baali basula ne babakwata ng'ababbi ne babalesa na buli kimu omwali ne ssente ze baali bamusasudde, kompyuta z'omu ngalo n'ebikozesebwa ebirala Ate nga batuuse e Mutukula agamba babayisa mu mbeera enzibu ne batulugunyizibwa ng'abakuumaddembe beerimbise mu kukwasisa ebiragiro bya corona. Bino byonna agamba abitadde mu luyimba lwe lw'atuumye ‘Balyamu kirye munda'.

OMUYIMBI Ziza
Bafana akaaba lwa
bizibu na mabanja
ge yaguddemu
oluvannyuma
lw'okumukwata
ng'ava okuyimba
e Tanzania.
Agamba yeewoze
obukadde 8 okukola
ku nsonga ze
n'okwesasulira ebbanga
lye yamaze
mu kalantiini.
Okufaananako
n'abayimbi abazze
bayimba ku bizibu
bye bayiseemu,
Bafana naye ateekateeka
okufulumya
oluyimba olulombojja
okunyigirizibwa
n'embeera
gye yayisiddwaamu
ne banne abalala
mukaaga bwe
baakwatibwa.
Wadde Bafana
agamba nti embeera
ya corona eyaviirako
ab'ebbaala
n'abeebivvulu
okuggalwa, ye
yamuwalirizza okugenda
e Tanzania
okunoonyeza famire
ye ekyokulya. Kati yejjusa
okugenda anti ng'oggyeeko
okukwatibwa ne banne abalala
mukaaga ne baggalirwa
n'okusimbibwa mu kkooti
olw'okumenya ebiragiro bya
Pulezidenti, ekimu ku bimuluma
y'engeri gye yakwatibwamu
ne banne okuva mu
wooteeri mwe baali basuze
oluvannyuma lw'okuyimba.
Agamba abeebyokwerinda
e Tanzania nga bakolagana
n'ab'e Uganda baasalako
wooteeri mwe baali basula
ne babakwata ng'ababbi
ne babalesa na buli kimu
omwali ne ssente ze baali
bamusasudde, kompyuta
z'omu ngalo n'ebikozesebwa
ebirala
Ate nga batuuse e
Mutukula agamba babayisa
mu mbeera enzibu
ne batulugunyizibwa
ng'abakuumaddembe
beerimbise mu kukwasisa
ebiragiro bya corona. Bino
byonna agamba abitadde
mu luyimba lwe lw'atuumye
‘Balyamu kirye munda'.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusumba Kaggwa ng'asala keeki n'abamu ku bataka b'ekika ky'Embogo.

Katikkiro Mayiga alabudde a...

EBYA poliisi okukuba omukka ogubalagala ku mukolo gw'abeekika kye Embogo biranze, Mmengo bw'etadde Gavumenti ku...

Abaserikale nga batwala omuvubuka gwe baakutte.

Ababazzi ku Bbiri bataayizz...

ABABAZZI b'oku Bbiri bataayizza abavubuka abagambibwa okuba mu kabinja akatigomya abantu ne babakuba.  Akabinja...

Minisita Kasolo ng'ayogera

Kampala mugigye mu by'obufu...

Minisita omubeezi ow'ebyensimbi n'ebibiina by'obwegassi Kyeyune Haruna Kasolo, yennyamidde olwabantu abafudde Kampala...

Paasita Yiga

Paasita Yiga mulwadde muyi

EMBEERA y'omusumba w'ekkanisa ya Revival Christian Church e Kawaala, Augustine Yiga yeeraliikirizza abagoberezi...

Namuli kati atunda nnyaaya e Kyengera.

Abaana be nasomesanga bansa...

Nga tukyatunuulira engeri ekitiibwa ky'abasomesa gye kityobooddwaamu, Teopista Namuli, akulira essomero lya Wonderworld...