TOP
  • Home
  • Kasalabecca
  • Ziza Bafana akubye oluyimba ng'atenda ennaku y'okumukwatira e Tanzania

Ziza Bafana akubye oluyimba ng'atenda ennaku y'okumukwatira e Tanzania

Added 24th September 2020

OMUYIMBI Ziza Bafana akaaba lwa bizibu na mabanja ge yaguddemu oluvannyuma lw’okumukwata ng’ava okuyimba e Tanzania. Agamba yeewoze obukadde 8 okukola ku nsonga ze n’okwesasulira ebbanga lye yamaze mu kalantiini.

Ziza Bafana

Ziza Bafana

OMUYIMBI Ziza Bafana akaaba lwa bizibu na mabanja ge yaguddemu oluvannyuma lw'okumukwata ng'ava okuyimba e Tanzania. Agamba yeewoze obukadde 8 okukola ku nsonga ze n'okwesasulira ebbanga lye yamaze mu kalantiini.

Okufaananako n'abayimbi abazze bayimba ku bizibu bye bayiseemu, Bafana naye ateekateeka okufulumya oluyimba olulombojja okunyigirizibwa n'embeera gye yayisiddwaamu ne banne abalala mukaaga bwe baakwatibwa.

Wadde Bafana agamba nti embeera ya corona eyaviirako ab'ebbaala n'abeebivvulu okuggalwa, ye yamuwalirizza okugenda e Tanzania okunoonyeza famire ye ekyokulya.

Kati yejjusa okugenda anti ng'oggyeeko okukwatibwa ne banne abalala mukaaga ne baggalirwa n'okusimbibwa mu kkooti olw'okumenya ebiragiro bya Pulezidenti, ekimu ku bimuluma y'engeri gye yakwatibwamu ne banne okuva mu wooteeri mwe baali basuze oluvannyuma lw'okuyimba.

Agamba abeebyokwerinda e Tanzania nga bakolagana n'ab'e Uganda baasalako wooteeri mwe baali basula ne babakwata ng'ababbi ne babalesa na buli kimu omwali ne ssente ze baali bamusasudde, kompyuta z'omu ngalo n'ebikozesebwa ebirala Ate nga batuuse e Mutukula agamba babayisa mu mbeera enzibu ne batulugunyizibwa ng'abakuumaddembe beerimbise mu kukwasisa ebiragiro bya corona.

Bino byonna agamba abitadde mu luyimba lwe lw'atuumye ‘Balyamu kirye munda'.

Engeri gye yagenda okuyimba

BAFANA agamba nti eggwanga nga terinnagenda ku muggalo waliwo pulomoota omu eyali amupangisizza okuyimba e Mbarara ku bukadde 5.

Yasooka kumuwaako obukadde 2.5 nga bbaalansi wa ku lunaku lwa kivvulu kyokka kino kyasazibwamu olwa corona.

Olwalabye akalembereza ku nkomerero y'omwezi oguwedde pulomoota ono yamusabye mu kifo ky'ekivvulu ky'e Mbarara amutwale e Tanzania gye yabadde n'ekivvulu ayimbire eyo ne Bafana kye yakkiriza nga bamusuubiza n'okumwongeramu ssente endala.

Bafana agamba wadde buli kimu kyabadde kitambudde bulungi kubanga n'Abatanzania yabakuba omuziki ne banyumirwa, obuzibu bwatandikira ku ba byakwerinda abaasalako wooteeri mwe baali basuze ne babakwata ng'ababbi ne babalesa n'ebintu byabwe.

Nga batuuse e Mutukula, Bafana agamba baabateeka mu kalantiini ya nnaku 14 ey'okwesasulira kyokka nga talina ssente ekyamuviirako okwewola obukadde 8 ez'okukozesa ate bayimbi banne nga bayita mu kibiina kya UMA baamuwaayo akakadde kamu kw'ossa ne mikwano gye balala.

Embeera y'ekkomera Nga kalantiini aweddeko Bafana ne banne baddamu okukwatibwa ne baggalirwa ku poliisi y'e Kaliisizo era ono agamba ennaku essatu ze baamala mu kaduukulu azigeraageranya ku ggeyeena olw'okunyigirizibwa kwe baayitamu. "Hoo.

Nategedde lwaki abantu abakwatibwa ne baggalirwa mu kifo ky'okulokoka ne beenenya obutaddamu kwonoona baddamu okukola ebikolobero bye bimu.

Baatugambanga nti ekkomera lisomesa naye okunyigirizibwa okuli eri ovaayo weekyaye n'oddamu okukola ekintu kye kimu.

Bw'ogattako okuwunya, ensiri, ebiku, okwebaka ku seminti n'ebirala, amazima ddala ekkomera ggeyeena yennyini.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusumba Kaggwa ng'asala keeki n'abamu ku bataka b'ekika ky'Embogo.

Katikkiro Mayiga alabudde a...

EBYA poliisi okukuba omukka ogubalagala ku mukolo gw'abeekika kye Embogo biranze, Mmengo bw'etadde Gavumenti ku...

Abaserikale nga batwala omuvubuka gwe baakutte.

Ababazzi ku Bbiri bataayizz...

ABABAZZI b'oku Bbiri bataayizza abavubuka abagambibwa okuba mu kabinja akatigomya abantu ne babakuba.  Akabinja...

Minisita Kasolo ng'ayogera

Kampala mugigye mu by'obufu...

Minisita omubeezi ow'ebyensimbi n'ebibiina by'obwegassi Kyeyune Haruna Kasolo, yennyamidde olwabantu abafudde Kampala...

Paasita Yiga

Paasita Yiga mulwadde muyi

EMBEERA y'omusumba w'ekkanisa ya Revival Christian Church e Kawaala, Augustine Yiga yeeraliikirizza abagoberezi...

Namuli kati atunda nnyaaya e Kyengera.

Abaana be nasomesanga bansa...

Nga tukyatunuulira engeri ekitiibwa ky'abasomesa gye kityobooddwaamu, Teopista Namuli, akulira essomero lya Wonderworld...