TOP

Full Figure atabaganye n'abayimbi b'e Mbarara

Added 18th October 2020

Full Figure ne Balaam e Mbarara.

Full Figure ne Balaam e Mbarara.

OMUYIMBI Jenniffer Fullfigure nga kati akola nga omuwabuzi wa pulezidenti Museveni asisinkanye abayimbi n'abavubuka b'e Mbarara okumalawo obukuubagano n'obutakkaanya obubaddewo nga buva ku kipande kye ng'ali ne Pulezidenti Museveni.

Kino kyaddiridde akatambi akasaasaanye ng'abavubuka abayimbi beemulugunya ku kipande kino ekyali kyateekebwa ku mayembe g'ente abantu abatannamanyika ng'ate ekifo kino bakiwa ekitiibwa era tewali kipande kyonna kyali kiteekeddwawo.

 

Full Figure (wakati) ng'asala ddansi n'abayimbi b'e Mbarara.

Baategeezezza nti nabo balina ebizibu ebibaluma kyokka balemeddwa okubituusa ewa Museveni ng'ate ne Full Figure tabayambye. Full Figure yabadde ne Ssaabavvulu Balaam Barugahare. Yagambye nti e Mbarara yagenzeeyo ng'omuwabuzi wa Pulezidenti ssi ng'omuyimbi era oluusi naye ensonga z'abayimbi tazimanya bwe baba tebamuwandiikidde n'abasaba okuyita mu mitendera mu kifo ky'okumulwanyisa.

Yabasabye abayimbi bano  okubeera obumu nga bwe bakola ku nsonga zaabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fred Bamwine ng’akwasa Ndisaba ekitabo ky’ensonga z'e Mukono.

Ndisaba akwasiddwa ofiisi

Bya JOANITA NAKATTE                                                                                           ...

David Kabanda (ku ddyo) omubaka wa Kasambya, Haji Bashir Ssempa Lubega owa Munisipaali y’e Mubende ne Micheal Muhereza Ntambi, ssentebe wa disitulikiti y’e Mubende nga bawayaamu.

Abaalondeddwa ku bubaka mu ...

ABAAWANGUDDE ebifo by’ababaka ba palamenti ku kaadi ya NRM mu konsitityuwensi ez’enjawulo mu Disitulikiti y’e Mubende...

Matia Lwanga Bwanika owa Wakiso.

Ssentebe afunira mu nsako

Eyali Sipiika wa Jinja munisipaali oluvannyuma eyafuulibwa City, Moses Bizitu yategeezezza nti bassentebe ba disitulikiti...

Bakkansala ba Kampala nga bateesa mu City Hall gye buvuddeko.

Omusaala ogulindiridde aba ...

Bya MARGARET ZALWANGO OKULONDA kwa bassentebe ba Disitulikiti, bammeeya b'ebibuga (cities) ne bakkansala b'oku...

Omulabirizi Luwalira ng'asimba omuti.

Ekkanisa ne bwekwata omulir...

Omulabirizi w'e Namirembe, Rt. Rev. Wilberforce Kityo Luwalira agumizza Abakristaayo nti wadde sitaani asiikudde...