
Maama w'abaana ng'abinuka.
Maama w'abaana ono y'omu ku bawagizi b'omubaka Robert Kyagulanyi Ssentamu era Pulezidenti w'ekibiina kya NUP.
Ku Lwokusatu, amawulire bwe gaamugudde mu matu nti Bobi Wine agenda kusisinkana Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga n'abakungu abalala ku Bulange e Mmengo, n'agenda mu kabada ye n'aggyayo gomesi ye emmyufu okukwatagana n'omukolo.
Kyokka olw'okuba akimanyi nti emikolo gy'omuntu we gitera okubeera egyembirigo, mu kifo ky'okwesiba ekikooye yayambaliddemu empale ya jjiini empanvu obutawemuka ssinga asanga okusoomoozebwa kw'abaserikale.
Ekirungi olugendo lwabadde lwa mirembe kyokka maama w'abaana ono olwalabye ku Bobi, essanyu ne limuyitirirako, ggomesi n'agifungiza n'atandika okusala ddansi ng'eno bwakuba enduulu.
Kyokka abamu ku bakyala baawuliddwa nga bavumirira omukyala ono okutyoboola ekitiibwa kya ggomesi nga bagamba nti nga bwe yategedde nti agenda mu bbinu, yandibadde ayambala ekiteeteeyi oba empale ne bbulawuzi.