TOP

Musumba munsabireko embeera enzitooweredde.

Added 23rd October 2020

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie Gombya. Ono aliko ekifo ky’eby’obufuzi kye yeegwanyiza mu Kampala era nga kirabika embeera emuzitooweredde nga kati buli munnaddiini amusala mu maaso amusaba amusabireko.

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie Gombya. Ono aliko ekifo ky'eby'obufuzi kye yeegwanyiza mu Kampala era nga kirabika embeera emuzitooweredde nga kati buli munnaddiini amusala mu maaso amusaba amusabireko.

Mwana muwala ono manya Muky. Gombya twamuguddeko ku mukolo ogumu ng'aliko abasumba baafunzizza ng'ayagala bamusabireko ndowooza asobole okufuna ssente z'okukubisa ebipande zaagamba nti zikyamwekubya mpi.

Owoolugambo waffe atugambye nti Gombya yabasabye n'okumuwa omukisa agende alye ku ssente z'obwa kansala manya asobole okuyitamu okukiikirira n'okuweereza Bannakampala.

Abaabaddewo baawuliddwa nga beebuuza nti engeri bba Sam Gombya gyaludde mu by'obufuzi talina ssente z'ayinza kuteeka mu mukyala we n'alema kutambula ng'akuba amavvi oba yabadde ku bubadi bwe ng'abayimbi bwe batera okukola nga baliko kye banoonya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga basena amazzi amacaafu.

Ab'e Rakai amazzi ge banywa...

Abatuuze mu byalo eby’enjawulo mu ggombolola y’e Ddwaaniro ne Kagamba mu Ssaza ly’e Buyamba mu disitulikiti y’e...

Omusajja ng'alaga ebintu ebyasangiddwayo.

Ab'e Nateete beemulugunya k...

Abatuuze b’e Nateete baddukidde ku poliisi ne bagisaba ekwatagane n’ekitongole kya KCCA okulaba nga bamenyawo ebiyumba...

Abasiraamu nga banyumyamu.

Bayimamu twemweyingiza mu b...

DISITULIKITI Khadi w’e Lwengo, Sheikh Ismail Ibrahim Kibuule asisinkanye Abasiraamu okuva mu mizigiti egy’enjawulo...

Pasita Caleb Tukaikiriza ng'ayogera mu lukiiko. Ku ddyo ye Bbaale.

Abawala 300 mu Kalungu bazz...

OMUBAKA wa Gavumenti, Pastor Caleb Tukaikiriza agugumbudde abazadde abatatuukirizza buvunaanyizibwa bw’okukuuma...

Abazannya ‘Bizzonto’ nga beegezaamu.

Abazannya komedi wa 'Bizzon...

POLIISI ezzeemu okukwata abasajja abazannya komedi wa ‘Bizzonto’ ne basimbibwa mu kkooti ya Buganda Road gye babasomedde...