TOP

Nina Roz asekeredde abamuyeeya obutafumbirwa

Added 25th October 2020

Nina Roz ne Daddy Andre nga bamema

Nina Roz ne Daddy Andre nga bamema

" NG'ENZE ne Andre abalala bali ku byabwe. Okukyala kuwedde kati mulinde kwanjula na mbaga," bwatyo omuyimbi Nina Roz  (Nina Akankunda) bwe yatandise ng'ayogera ku mukolo gwe kwe yakyalizza olulenzi lwe mu bazadde be e Kireka.

Nina Roz gwe babadde bayimbirira n'okumubuuza omulenzi we na ddi lw'afumbirwa ku Lwokutano yabakubye ‘equalizer' bwe yakyazizza muyimbi munne era pulodyusa Andrew Ojambo amanyiddwa nga Daddy Andre n'alumya abayaaye n'enjogera y'ennaku zino.

Omukolo guno gwabadde gwa kyama era Nina Roz amaze akaseera nga yeebalama ebibuuzo bya bannamawulire ababadde bamubuuza ku mukolo guno nga n'olumu yeegana nti talina mukolo gwateekateeka era ng'agamba Adrew myuziki y'abagatta olw'okutya ebiyinza okuddirira.

Omukulo guno we gubeereddewo nga Nina Roz ayogerwako nga bw'alina enkolagana ey'enjawulo n'abasajja ab'enjawulo wabula gye buvuddeko yategeeza nga bano bwe bali mikwano gye ate abalala babadde bamuteekamu ssente nga bamaneja okutumbula ekitone kye.

Ye Daddy Andre emabegako abadde  mu ntalo za laavu n'abawala omuli okuli ne Angella Katatumba gwe yatabuka naye ne beerangira ebisongovu.

Kyokka Katatumba yabadde omu ku bantu abaasoose okwagaliza ababiri bano obufumbo obulungi ng'obubaka bwe yabutadde ku mukutu gwe ogwa twitter era abamu ku bantu obwedda ababusoma nga bamuddamu nti ayogeza nnugu ate abalala nti alaze obukulu n'omutima omulungi.

Nina Roz  ne Daddy Andrew obwedda abeewaana, buli omu yalayidde okulaga munne laavu obutamujuza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssegirinya atenda Nalufeenya

Ssegirinya yandyesonyiwa ''Struggle'' ! sikuntenda gyatendamu Nalufeenya.

Bobi Wine agudde mu lukwe l...

Asimbudde Fort Portal kumakya olwaleero n’agenda e Bundibugyo kyokka tebamuganyizza kutuuka mu kibuga wakati

Walukagga ne muwala we e Maya.

Omuyimbi Walukagga awonye o...

Omuyimbi Mathias Walukagga alula. Ku Mmande, Walukagga yasiibye ku kitebe kya poliisi e Bukoto ekya Crime Intelligence...

Fr. Mugisha

Faaza w'e Masaka ayongedde ...

FAAZA Richard Mugisha eyagugumbula abanene mu Gavumenti nga bw'awaana Bobi Wine azzeemu okuta akaka n'alabula...

Omubaka Allan Ssewanyana ng'awayaamu ne bannamateeka be.

Omubaka Ssewanyana ayimbuddwa

OMULAMUZI wa kkooti y'e Makindye Jude Okumu ayimbudde omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana n'abawagizi be...